Yona 3:1-10

  • Yona agondera Katonda n’agenda e Nineeve (1-4)

  • Abantu b’e Nineeve beenenya bwe bawulira obubaka bwa Yona (5-9)

  • Katonda asalawo obutazikiriza Nineeve (10)

3  Awo Yakuwa n’ayogera ne Yona omulundi ogw’okubiri n’amugamba nti:+  “Situka ogende e Nineeve+ ekibuga ekikulu, olangirire mu kibuga ekyo obubaka bwe nkubuulira.”  Awo Yona n’asituka n’agenda e Nineeve+ nga Yakuwa bwe yali amugambye.+ Nineeve kyali kibuga kinene nnyo,* era ng’okutambula okukimalako kitwala ennaku ssatu.  Awo Yona n’ayingira mu kibuga n’atambula olugendo lwa lunaku lumu nga bw’alangirira nti: “Ebula ennaku 40 zokka Nineeve kizikirizibwe.”  Abantu b’omu Nineeve ne bakkiririza mu Katonda,+ ne balangirira okusiiba era bonna ne bambala ebibukutu, abagagga n’abaavu, abakulu n’abato.  Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku kabaka wa Nineeve, n’asituka ku ntebe ye ey’obwakabaka n’aggyamu ekyambalo kye eky’obwakabaka n’ayambala ebibukutu n’atuula mu vvu.  Ate era yalagira kirangirirwe mu Nineeve mwonna nti,“Kino kye kiragiro kya kabaka n’abakungu be: Tewaba n’omu akomba ku kantu konna, k’abe muntu oba nsolo, ka bibe bisibo oba magana. Tewaba alya emmere wadde anywa amazzi.  Bambale ebibukutu, abantu n’ensolo; bakoowoole nnyo Katonda, era baleke amakubo gaabwe amabi n’ebintu eby’obukambwe bye babadde bakola.  Ani amanyi obanga Katonda ow’amazima anaddamu n’alowooza* ku ekyo ky’ayagala okukola n’alekera awo okutusunguwalira ne tutazikirira?” 10  Katonda ow’amazima bwe yalaba bye baakola, nga bwe baali baleseeyo amakubo gaabwe amabi,+ n’akyusa ekirowoozo* ky’okuleeta akabi ke yali agambye okubatuusaako, n’atakaleeta.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “kikulu nnyo eri Katonda.”
Oba, “anejjusa.”
Oba, “ne yejjusa.”