Yona 4:1-11
4 Naye ekyo tekyasanyusa Yona, era yasunguwala nnyo.
2 Awo n’asaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ai Yakuwa, ekyo si kye nnayogera nga ndi mu nsi yange? Eyo ye nsonga lwaki nnagezaako okuddukira e Talusiisi+ kubanga nnali nkimanyi nti oli Katonda wa kisa era omusaasizi, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi okutajjulukuka+ era omwetegefu okukyusa ekirowoozo n’otobonereza.
3 Kaakano Ai Yakuwa, nkwegayiridde nzigyaako obulamu bwange, kubanga kirungi nfe okusinga okuba omulamu.”+
4 Awo Yakuwa n’amubuuza nti: “Oli mutuufu okusunguwala ennyo bw’otyo?”
5 Awo Yona n’afuluma ekibuga n’atuula ku luuyi lw’ekibuga olw’ebuvanjuba; ne yeekolera ekisiisira n’atuula mu kisiikirize kyakyo n’alinda okulaba ekinaatuuka ku kibuga.+
6 Yakuwa Katonda n’ameza ekiryo kirandire waggulu w’ekifo Yona we yali, kiwe omutwe gwe ekisiikirize era afune obuweerero. Awo Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo ekyo.
7 Kyokka ku lunaku olwaddako, awo ng’emmambya esala, Katonda ow’amazima n’asindika ekiwuka ne kirya ekiryo, ekiryo ne kikala.
8 Enjuba bwe yavaayo, Katonda n’asindika embuyaga ey’ebuvanjuba eyokya, omusana ne gwokya Yona mu mutwe n’abulako katono okuzirika; n’asaba afe, era n’agamba nti: “Kirungi nfe okusinga okuba omulamu.”+
9 Awo Katonda n’abuuza Yona nti: “Oli mutuufu okusunguwala ennyo bw’otyo olw’ekiryo?”+
Yona n’addamu nti: “Ndi mutuufu okusunguwala; ndi musunguwavu nnyo era mpulira njagala na kufa.”
10 Naye Yakuwa n’amugamba nti: “Ggwe olumiriddwa ekiryo ky’otaateganidde era ky’otaakuzizza; kyameze mu kiro kimu era ne kifa mu kiro kimu.
11 Kale nze sandisaasidde Nineeve ekibuga ekikulu+ ekirimu abantu abasukka mu 120,000 abatasobola kwawula kituufu ku kikyamu,* era omuli n’ensolo zaabwe ennyingi?”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abatasobola kwawula mukono gwabwe gwa ddyo ku gwa kkono.”