Yoswa 10:1-43
10 Kabaka Adoni-zedeki owa Yerusaalemi olwawulira nti Yoswa awambye ekibuga Ayi n’akizikiriza, kyo ne kabaka waakyo+ n’abikola nga bwe yali akoze Yeriko ne kabaka waakyo,+ era bwe yawulira nti n’abantu b’omu Gibiyoni bakoze endagaano ey’emirembe ne Isirayiri+ era nga basigadde wamu nabo,
2 n’atya nnyo+ kubanga Gibiyoni kyali kibuga kinene okufaananako ebibuga ebirala ebyali bifugibwa bakabaka, era nga kyali kinene n’okusinga Ayi,+ era nga n’abasajja baamu bonna basajja balwanyi.
3 Awo Adoni-zedeki kabaka wa Yerusaalemi n’aweereza obubaka eri Kokamu kabaka wa Kebbulooni+ ne Piramu kabaka wa Yalamusi ne Yafiya kabaka wa Lakisi ne Debiri kabaka wa Eguloni,+ ng’agamba nti:
4 “Mujje munnyambe tulwanyise Gibiyoni, kubanga ekoze endagaano ey’emirembe ne Yoswa n’Abayisirayiri.”+
5 Awo bakabaka abataano ab’Abaamoli+—kabaka wa Yerusaalemi, kabaka wa Kebbulooni, kabaka wa Yalamusi, kabaka wa Lakisi, ne kabaka wa Eguloni—ne bakuŋŋaana nga bali wamu n’amagye gaabwe, ne bagenda ne basiisira okulwanyisa Gibiyoni.
6 Awo abasajja b’e Gibiyoni ne baweereza Yoswa obubaka mu lusiisira e Girugaali+ nga bagamba nti: “Toyabulira baddu bo.+ Jjangu mangu otuwonye era otuyambe, kubanga bakabaka bonna ab’Abaamoli ababeera mu kitundu eky’ensozi beegasse wamu okutulwanyisa.”
7 Yoswa n’ava e Girugaali n’agenda n’abasajja bonna abalwanyi era n’abasajja bonna abazira.+
8 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Tobatya,+ kubanga mbagabudde mu mukono gwo.+ Tewali n’omu ku bo anaayinza okukulwanyisa.”+
9 Yoswa n’abazinduukiriza oluvannyuma lw’okutambula ekiro kyonna okuva e Girugaali.
10 Yakuwa n’abaleetera okukyankalana.+ Abayisirayiri ne batta bangi nnyo ku bo e Gibiyoni, ne babawondera mu kkubo eryambuka e Besu-kolooni, nga bagenda babatta okutuukira ddala e Azeka n’e Makkeda.
11 Bwe baali badduka Abayisirayiri nga baserengeta e Besu-kolooni, Yakuwa n’asuula amayinja amanene ag’omuzira okuva mu ggulu ne gabakuba okutuukira ddala e Azeka, ne basaanawo. Era abo abaafa amayinja ag’omuzira baali bangi okusinga abo Abayisirayiri be batta n’ekitala.
12 Ku lunaku olwo Yakuwa kwe yafufuggaliza Abaamoli ng’Abayisirayiri balaba, Yoswa n’ayogera ne Yakuwa mu maaso ga Isirayiri, ng’agamba nti:
“Enjuba, sigala mu kifo kimu+ waggulu wa Gibiyoni,+Naawe omwezi sigala mu kifo kimu waggulu w’Ekiwonvu ky’e Ayalooni.”
13 Awo enjuba n’omwezi ne bisigala mu kifo kimu okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwoolera eggwanga ku balabe baalyo. Ekyo tekiwandiikiddwa mu kitabo kya Yasali?+ Ku lunaku olwo enjuba teyagwa. Yasigala mu kifo kimu olunaku lwonna.
14 Waali tewabangawo lunaku ng’olwo, era teruddangamu kubaawo, Yakuwa lwe yawuliriza eddoboozi ly’omuntu,+ kubanga Yakuwa kennyini ye yali alwanirira Isirayiri.+
15 Oluvannyuma lw’ekyo, Yoswa n’Abayisirayiri bonna baddayo mu lusiisira e Girugaali.+
16 Naye bakabaka abataano badduka ne beekweka mu mpuku e Makkeda.+
17 Awo ne bategeeza Yoswa nti: “Bakabaka abataano basangiddwa nga beekwese mu mpuku e Makkeda.”+
18 Yoswa n’agamba nti: “Muyiringise amayinja amanene mugateeke ku mulyango gw’empuku era muteekewo n’abasajja bakuumewo.
19 Naye mmwe temukoma awo. Muwondere abalabe bammwe, mubalumbe nga mubava emabega.+ Temubaganya kuyingira mu bibuga byabwe, kubanga Yakuwa Katonda wammwe abawaddeyo mu mikono gyammwe.”
20 Yoswa n’Abayisirayiri bwe baamala okutta abalabe baabwe bangi nnyo, kumpi okubamalirawo ddala, okuggyako abo abaawonawo ne baddukira mu bibuga ebiriko bbugwe,
21 awo abantu bonna ne baddayo mirembe eri Yoswa mu lusiisira e Makkeda. Tewali muntu yenna yeetantala kwogera bubi ku Bayisirayiri.
22 Awo Yoswa n’agamba nti: “Mugguleewo omulyango gw’empuku muggyemu bakabaka abo abataano mubandeetere.”
23 Ne baggya mu mpuku bakabaka bano abataano: kabaka wa Yerusaalemi, kabaka wa Kebbulooni, kabaka wa Yalamusi, kabaka wa Lakisi, ne kabaka wa Eguloni,+ ne babamuleetera.
24 Bwe baamala okubaleeta eri Yoswa, Yoswa n’ayita abasajja ba Isirayiri bonna n’agamba abaduumizi b’abasajja abalwanyi abaali bagenze naye nti: “Mujje wano mulinnye ku nsingo za bakabaka bano.” Awo ne bajja ne balinnya ku nsingo zaabwe.+
25 Yoswa n’abagamba nti: “Temutya era temutekemuka.+ Mubeere bavumu era mubeere ba maanyi, kubanga bw’atyo Yakuwa bw’ajja okukola abalabe bammwe bonna be mulwanyisa.”+
26 Awo Yoswa n’abatta n’abawanika ku miti etaano, ne babeerako okutuusa akawungeezi.
27 Enjuba bwe yali egwa, Yoswa n’alagira ne baggya emirambo gyabwe ku miti+ ne bagisuula mu mpuku mwe baali beekwese. Oluvannyuma ne bateeka amayinja amanene ku mulyango gw’empuku, era gikyaliyo n’okutuusa leero.
28 Yoswa yawamba Makkeda+ ku lunaku olwo era n’atta n’ekitala ab’omu kibuga ekyo. Yatta kabaka waakyo n’abantu bonna abaakirimu obutalekaawo n’omu.+ Bw’atyo n’akola kabaka wa Makkeda+ nga bwe yakola kabaka wa Yeriko.
29 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna abaali naye ne bava e Makkeda ne bagenda e Libuna ne bakirwanyisa.+
30 Yakuwa nakyo n’akiwaayo mu mukono gwa Isirayiri awamu ne kabaka waakyo,+ ne bakikuba era ne batta abantu baamu bonna n’ekitala. Tewali n’omu gwe baaleka nga mulamu. Ne bakola kabaka waakyo nga bwe baakola kabaka wa Yeriko.+
31 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna abaali naye ne bava e Libuna ne bagenda e Lakisi+ ne basiisira eyo ne bakirwanyisa.
32 Yakuwa n’awaayo Lakisi mu mukono gwa Isirayiri ne bakiwamba ku lunaku olw’okubiri, ne bakikuba era ne batta abantu baamu bonna n’ekitala+ nga bwe baakola Libuna.
33 Awo Kolamu kabaka wa Gezeri+ n’ayambuka okuyamba Lakisi, naye Yoswa n’amutta awamu n’abantu be bonna ne watasigalawo n’omu.
34 Yoswa n’Abayisirayiri bonna abaali naye ne bava e Lakisi ne bagenda ne basiisira e Eguloni+ ne bakirwanyisa.
35 Ne bakiwamba ku lunaku olwo, ne batta abantu baamu n’ekitala. Ku lunaku olwo baazikiriza abantu bonna abaakirimu nga bwe baakola Lakisi.+
36 Yoswa n’Abayisirayiri bonna abaali naye ne bava e Eguloni ne bagenda e Kebbulooni+ ne bakirwanyisa.
37 Ne bakiwamba ne kabaka waakyo n’obubuga bwakyo bwonna ne batta abantu baamu bonna n’ekitala, obutalekaawo n’omu. Yazikiriza abantu baamu bonna nga bwe yakola Eguloni.
38 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna ne badda e Debiri+ ne bakirwanyisa.
39 N’akiwamba awamu ne kabaka waakyo n’obubuga bwakyo bwonna, ne batta abantu baamu n’ekitala ne babazikiriza bonna,+ obutalekaawo n’omu.+ N’akola Debiri ne kabaka waakyo nga bwe yakola Kebbulooni, era n’akikola nga bwe yakola Libuna ne kabaka waakyo.
40 Yoswa yawamba ekitundu kyonna eky’ensozi, Negebu, Sefera,+ n’obuserengeto, ne bakabaka baabyo bonna, era n’ataleka muntu yenna nga mulamu; yazikiriza buli kintu ekissa omukka,+ nga Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yalagira.+
41 Yoswa yabiwamba okuva e Kadesi-baneya+ okutuuka e Gaaza+ ne mu nsi yonna ey’e Goseni+ okutuukira ddala e Gibiyoni.+
42 Yoswa yawamba bakabaka abo bonna n’ensi zaabwe mu kiseera kye kimu, kubanga Yakuwa Katonda wa Isirayiri ye yali alwanirira Isirayiri.+
43 Awo Yoswa n’Abayisirayiri bonna abaali naye ne baddayo mu lusiisira e Girugaali.+