Yoswa 12:1-24
12 Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula, bannannyini nsi ezaali ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebuvanjuba, okuva ku Kiwonvu* Alunoni+ okutuukira ddala ku Lusozi Kerumooni+ n’ekitundu kyonna ekya Alaba okwolekera ebuvanjuba:+
2 Kabaka Sikoni+ ow’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni era yafuganga Aloweri+ ekyali kiriraanye Ekiwonvu* Alunoni.+ Ekitundu kyonna okuva mu makkati g’Ekiwonvu Alunoni okutuuka ku Kiwonvu Yabboki kyali kikye. Yafuganga kimu kya kubiri ekya Gireyaadi. Ekiwonvu* Yabboki nakyo kyali nsalo y’Abaamoni.
3 Ate era yafuganga ne Alaba okutuukira ddala ku Nnyanja Kinneresi*+ okwolekera ebuvanjuba, n’okutuukira ddala ku Nnyanja ey’omu Alaba, Ennyanja ey’Omunnyo,* ku luuyi olw’ebuvanjuba okwolekera e Besu-yesimosi, n’okwolekera ebukiikaddyo wansi wa Pisuga.+
4 Era baatwala n’ekitundu ekyali kifugibwa Kabaka Ogi+ owa Basani, omu ku Baleefa abaali bakyasigaddewo,+ eyabeeranga mu Asutaloosi n’e Edereyi;
5 amatwale ge gaali gazingiramu Olusozi Kerumooni, ne Saleka, ne Basani yonna,+ okutuukira ddala ku nsalo y’Abagesuli n’Abamaakasi,+ awamu n’ekitundu kimu kya kubiri ekya Gireyaadi, okutuuka ku kitundu ekyali kifugibwa Kabaka Sikoni owa Kesuboni.+
6 Musa omuweereza wa Yakuwa n’Abayisirayiri baawangula bakabaka abo,+ oluvannyuma ensi yaabwe Musa omuweereza wa Yakuwa n’agiwa Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase.+
7 Bano be bakabaka b’ensi Yoswa n’Abayisirayiri be baawangula ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebugwanjuba, okuva e Bbaali-gaadi+ mu Kiwonvu ky’e Lebanooni+ okutuuka ku Lusozi Kalaki,+ olutuukira ddala e Seyiri;+ oluvannyuma ensi eyo Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri nga buli kimu kifuna omugabo gwakyo;+
8 mu kitundu eky’ensozi, mu Sefera, mu Alaba, ku buserengeto, mu ddungu, ne mu Negebu.+ Ebyo bye byali ebitundu by’Abakiiti, Abaamoli,+ Abakanani, Abaperizi, Abakiivi, n’Abayebusi,+ era bano be baali bakabaka baabwe:
9 Kabaka wa Yeriko,+ omu; kabaka wa Ayi,+ ekyali okumpi ne Beseri, omu;
10 kabaka wa Yerusaalemi, omu; kabaka wa Kebbulooni,+ omu;
11 kabaka wa Yalamusi, omu; kabaka wa Lakisi, omu;
12 kabaka wa Eguloni, omu; kabaka wa Gezeri,+ omu;
13 kabaka wa Debiri,+ omu; kabaka wa Gederi, omu;
14 kabaka wa Koluma, omu; kabaka wa Aladi, omu;
15 kabaka wa Libuna,+ omu; kabaka wa Adulamu, omu;
16 kabaka wa Makkeda,+ omu; kabaka wa Beseri,+ omu;
17 kabaka wa Tappuwa, omu; kabaka wa Keferi, omu;
18 kabaka wa Afeki, omu; kabaka wa Lasaloni, omu;
19 kabaka wa Madoni, omu; kabaka wa Kazoli,+ omu;
20 kabaka wa Simuloni-meroni, omu; kabaka wa Akusafu, omu;
21 kabaka wa Taanaki, omu; kabaka wa Megiddo, omu;
22 kabaka wa Kedesi, omu; kabaka wa Yokuneyamu+ mu Kalumeeri, omu;
23 kabaka wa Doli ku busozi bw’e Doli,+ omu; kabaka wa Goyiyimu mu Girugaali, omu;
24 kabaka wa Tiruza, omu; bakabaka bonna awamu baali 31.