Yoswa 19:1-51
19 Akalulu ak’okubiri+ kaagwa ku Simiyoni,+ ku b’ekika kya Simiyoni ng’empya zaabwe bwe zaali, era obusika bwabwe bwali mu busika bwa Yuda.+
2 Mu busika bwabwe mwalimu Beeru-seba+ ne Seba, Molada,+
3 Kazali-suwali,+ Bala, Ezemu,+
4 Erutoladi,+ Besuli, Koluma,
5 Zikulagi,+ Besu-malukabosi, Kazali-susa,
6 Besu-lebayosi,+ ne Salukeni—ebibuga 13 n’ebyalo ebibyetoolodde;
7 Ayini, Limmoni, Eseri, ne Asani+—ebibuga bina n’ebyalo ebibyetoolodde;
8 awamu n’ebyalo byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baalasu-beeri, Laama ow’ebukiikaddyo. Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Simiyoni ng’empya zaabwe bwe zaali.
9 Bazzukulu ba Simiyoni baafuna obusika bwabwe mu kitundu kya Yuda, kubanga omugabo gwa Yuda gwali munene nnyo. Bwe batyo bazzukulu ba Simiyoni ne bafuna ettaka mu busika bwa Yuda.+
10 Akalulu ak’okusatu+ kaagwa ku bazzukulu ba Zebbulooni+ ng’empya zaabwe bwe zaali, era ensalo y’obusika bwabwe yatuukira ddala e Salidi.
11 Yayambuka ku luuyi olw’ebugwanjuba n’egenda e Maleyali n’e Dabbesesi n’etuuka ku kiwonvu* ekiri mu maaso ga Yokuneyamu.
12 Yava e Salidi n’edda ku luuyi olw’ebuvanjuba n’etuuka ku nsalo ya Kisulosu-taboli n’egenda e Daberasi+ n’etuuka e Yafiya.
13 Yava eyo, ne yeeyongerayo ku luuyi olw’ebuvanjuba n’egenda e Gasu-keferi,+ n’e Esu-kazini, n’e Limmoni n’etuuka e Neya.
14 Ensalo yeetooloola ku luuyi olw’ebukiikakkono n’egenda e Kannasoni, n’ekoma ku Kiwonvu Ifutaka-eri,
15 n’e Kattasi, n’e Nakalali, n’e Simuloni,+ n’e Idala, n’e Besirekemu+—ebibuga 12 n’ebyalo ebibyetoolodde.
16 Obwo bwe bwali obusika bwa bazzukulu ba Zebbulooni ng’empya zaabwe bwe zaali.+ Ebyo bye byali ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
17 Akalulu ak’okuna+ kaagwa ku Isakaali,+ ku bazzukulu ba Isakaali ng’empya zaabwe bwe zaali.
18 Ensalo yaabwe yatuuka e Yezuleeri,+ n’e Kyesulosi, n’e Sunemu,+
19 n’e Kafalayimu, n’e Siyoni, n’e Anakalasi,
20 n’e Labbisi, n’e Kisiyoni, n’e Ebezi,
21 n’e Lemesi, n’e Eni-gannimu,+ n’e Enu-kadda, n’e Besu-pazzezi.
22 Ensalo yatuuka e Taboli,+ n’e Sakazuma, n’e Besu-semesi, n’ekoma ku Yoludaani—ebibuga 16 n’ebyalo ebibyetoolodde.
23 Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Isakaali ng’empya zaabwe bwe zaali,+ ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
24 Akalulu ak’okutaano+ kaagwa ku b’ekika kya Aseri+ ng’empya zaabwe bwe zaali.
25 Ensalo yaabwe yali eyita Kerukasi,+ n’e Kali, n’e Beteni, n’e Akusafu,
26 n’e Alammereki, n’e Amadi, n’e Misali. Yatuuka ku Kalumeeri+ ku luuyi olw’ebugwanjuba ne ku Sikoli-libunasi,
27 n’eddayo ku luuyi olw’ebuvanjuba n’etuuka e Besu-dagoni n’e Zebbulooni ne ku Kiwonvu Ifutaka-eri ku luuyi olw’ebukiikakkono, n’egenda e Besu-emeki n’e Neyeri ne yeeyongerayo e Kabuli ku mukono ogwa kkono,
28 n’e Ebuloni, n’e Lekobu, n’e Kammoni, n’e Kana, n’etuukira ddala e Sidoni Ekinene.+
29 Ensalo yaddayo e Laama n’etuukira ddala ku kibuga Ttuulo+ ekyaliko bbugwe. Ate era yaddayo e Kosa n’ekoma ku nnyanja mu kitundu ky’e Akuzibu,
30 n’e Uma, n’e Afeki,+ n’e Lekobu+—ebibuga 22 n’ebyalo ebibyetoolodde.
31 Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Aseri ng’empya zaabwe bwe zaali,+ era ebyo bye byali ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
32 Akalulu ak’omukaaga+ kaagwa ku bazzukulu ba Nafutaali ng’empya zaabwe bwe zaali.
33 Ensalo yaabwe yava mu Kerefu ne ku muti omunene oguli mu Zaanannimu,+ n’egenda e Adami-nekebu n’e Yabuneeri n’etuukira ddala e Lakkumu, era n’ekoma ku Yoludaani.
34 Ensalo yaddayo ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Azunosu-taboli, n’eva eyo n’egenda e Kukkoki n’etuuka ku nsalo ya Zebbulooni ku luuyi olw’ebukiikaddyo, n’etuuka ku nsalo ya Aseri ku luuyi olw’ebugwanjuba, era n’etuuka ne ku Yuda ku Mugga Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba.
35 Ebibuga ebyaliko bbugwe byali: Ziddimu, Zeri, Kammasi,+ Lakkasi, Kinneresi,
36 Adama, Laama, Kazoli,+
37 Kedesi,+ Edereyi, Eni-kazoli,
38 Yironi, Migudali-eri, Kolemu, Besu-anasi, ne Besu-semesi+—ebibuga 19 n’ebyalo byabyo.
39 Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Nafutaali ng’empya zaabwe bwe zaali,+ ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
40 Akalulu ak’omusanvu+ kaagwa ku b’ekika kya Ddaani+ ng’empya zaabwe bwe zaali.
41 Ensalo y’obusika bwabwe yali Zola,+ Esutawoli, Iru-semesi,
42 Saalabbini,+ Ayalooni,+ Isula,
43 Eroni, Timuna,+ Ekulooni,+
44 Eruteke, Gibbesoni,+ Baalasi,
45 Yekudi, Bene-beraki, Gasu-limmoni,+
46 Me-yalakoni, ne Lakoni; ensalo eyo yali eyita kumpi n’e Yopa.+
47 Naye ekitundu kya Ddaani kyali tekibamala.+ Awo ab’ekika kya Ddaani ne bambuka ne balwanyisa Lesemu+ ne bakiwamba ne batta abantu baamu n’ekitala. Awo ne bakyeddiza, ne bakibeeramu, era ne bakyusa erinnya lyakyo ne bakituuma Ddaani, nga bakibbula mu Ddaani, jjajjaabwe.+
48 Obwo bwe bwali obusika bw’ab’ekika kya Ddaani ng’empya zaabwe bwe zaali, era ebyo bye byali ebibuga n’ebyalo ebibyetoolodde.
49 Awo ne bamaliriza okugabanyaamu ensi ebitundu okuba obusika, olwo Abayisirayiri ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni obusika wakati mu bo.
50 Nga Yakuwa bwe yalagira, baamuwa ekibuga Timunasu-sera+ kye yasaba, ekyali mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, n’akizimba n’abeera omwo.
51 Obwo bwe busika Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni awamu n’abakulu b’ennyumba z’ebika by’Abayisirayiri bwe baagabanyaamu+ nga bakuba akalulu e Siiro+ mu maaso ga Yakuwa, ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+ Awo ne bamaliriza okugabanyaamu ensi.