Yoswa 20:1-9
-
Ebibuga eby’okuddukiramu (1-9)
20 Awo Yakuwa n’agamba Yoswa nti:
2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby’okuddukiramu+ bye nnabagambako okuyitira mu Musa,
3 oyo anattanga omuntu mu butanwa mw’anaddukiranga. Binaabanga bibuga bye munaddukirangamu okusobola okuwona oyo awoolera eggwanga.+
4 Oyo anaabanga asse omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo+ n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga+ n’ategeeza abakadde b’omu kibuga ekyo ensonga ze. Era banaamuyingizanga mu kibuga ne bamuwa aw’okubeera era anaabeeranga nabo.
5 Oyo awoolera eggwanga bw’anaamuwonderanga, anaabanga asse omuntu tebamuwangayo mu mukono gwe, kubanga omuntu yamutta mu butanwa naye si lwa kumukyawa.+
6 Anaabeeranga mu kibuga ekyo okutuusa lw’anaawozesebwanga mu maaso g’ekibiina,+ era n’asigala omwo okutuusa nga kabona asinga obukulu+ anaabangawo mu kiseera ekyo afudde. Olwo oyo anaabanga asse omuntu anaddangayo mu nnyumba ye eri mu kibuga kye yaddukamu.’”+
7 Awo ne batukuza* Kedesi+ eky’omu Ggaliraaya ekiri mu kitundu kya Nafutaali eky’ensozi, ne Sekemu+ ekiri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ne Kiriyasu-aluba,+ kwe kugamba, Kebbulooni, ekiri mu kitundu kya Yuda eky’ensozi.
8 Mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani, okuliraana Yeriko, baalonda Bezeri+ eky’ekika kya Lewubeeni ekiri mu ddungu mu kitundu eky’omuseetwe, ne Lamosi+ eky’ekika kya Gaadi ekiri mu Gireyaadi, ne Golani+ eky’ekika kya Manase+ ekiri mu Basani.
9 Ebyo bye bibuga bye baalondera Abayisirayiri bonna n’abagwira ababeera mu bo, omuntu yenna eyandisse omuntu mu butanwa addukirenga omwo,+ aleme okuttibwa oyo awoolera eggwanga nga tannawozesebwa mu maaso g’ekibiina.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ne bayawulawo.”