Yoswa 3:1-17
-
Abayisirayiri basomoka Yoludaani (1-17)
3 Awo Yoswa n’agolokoka ku makya nnyo, era ye n’Abayisirayiri* bonna ne bava e Sitimu+ ne bagenda ku Mugga Yoludaani. Baasula awo nga tebannasomoka.
2 Nga wayiseewo ennaku ssatu, abaami+ baayita mu lusiisira
3 ne bagamba abantu nti: “Amangu ddala nga mulabye essanduuko y’endagaano ya Yakuwa Katonda wammwe ng’esituliddwa bakabona Abaleevi,+ mujja kuva mu kifo we muli mugigoberere.
4 Naye mulekeewo ebbanga lya mikono nga 2,000* wakati wammwe nayo; temugisemberera, musobole okumanya ekkubo lye mugwanidde okukwata, kubanga ekkubo lino temuliyitangamuko.”
5 Awo Yoswa n’agamba abantu nti: “Mwetukuze,+ kubanga enkya Yakuwa agenda kukolera mu mmwe ebintu ebyewuunyisa.”+
6 Yoswa n’agamba bakabona nti: “Musitule essanduuko+ y’endagaano mukulemberemu abantu.” Ne basitula essanduuko y’endagaano ne bakulemberamu abantu.
7 Yakuwa n’agamba Yoswa nti: “Olwa leero ŋŋenda kutandika okukugulumiza mu maaso ga Isirayiri yonna,+ balyoke bamanye nti nja kuba naawe+ nga bwe nnali ne Musa.+
8 Era bakabona abasitudde essanduuko y’endagaano bawe ekiragiro kino nti: ‘Bwe munaatuuka ku Mugga Yoludaani, mujja kulinnya mu mazzi musigale nga mugayimiriddemu.’”+
9 Yoswa n’agamba Abayisirayiri nti: “Musembere wano, muwulire ebigambo bya Yakuwa Katonda wammwe.”
10 Awo Yoswa n’abagamba nti: “Ku kino kwe munaategeerera nti Katonda omulamu ali mu mmwe,+ era nti taaleme kugoba mu maaso gammwe Abakanani, Abakiiti, Abakiivi, Abaperizi, Abagirugaasi, Abaamoli, n’Abayebusi.+
11 Laba! Essanduuko ey’endagaano ya Mukama ow’ensi yonna ebakulembeddemu okusomoka Yoludaani.
12 Kale kaakano mulonde abasajja 12 okuva mu bika bya Isirayiri, omusajja omu omu okuva mu buli kika.+
13 Amangu ddala nga bakabona abasitudde Essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa, Mukama ow’ensi yonna, balinnye mu Mugga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani agakulukuta nga gava ku ludda olw’eky’engulu gajja kulekera awo okukulukuta geetuume wamu.”+
14 Abantu bwe baava mu weema zaabwe nga tebannasomoka Yoludaani, bakabona abaali basitudde essanduuko+ y’endagaano baabakulemberamu.
15 Bakabona abaali basitudde Essanduuko olwatuuka ku Mugga Yoludaani ne balinnya mu mazzi (Omugga Yoludaani guba gwanjadde+ mu kiseera ky’amakungula),
16 amazzi agaali gava eky’engulu ne galekera awo okukulukuta, ne geetuumira wala nnyo, e Adamu, ekibuga ekiri okumpi n’e Zalesani, ate ago agaali gakkirira mu Nnyanja ya Alaba, Ennyanja ey’Omunnyo,* ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera mu maaso ga Yeriko.
17 Bakabona abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa baasigala nga bayimiridde awakalu+ wakati mu Mugga Yoludaani, Abayisirayiri bonna ne bayita awakalu,+ okutuusa eggwanga lyonna lwe lyasomoka Yoludaani.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abaana ba Isirayiri.”
^ Mita nga 890 (ffuuti 2,920). Laba Ebyong. B14.
^ Ennyanja Enfu.