Yoweeri 2:1-32

  • Olunaku lwa Yakuwa n’eggye lye eddene (1-11)

  • Yakuwa akoowoola abantu badde gy’ali (12-17)

    • “Muyuze emitima gyammwe” (13)

  • Yakuwa ky’agamba abantu be (18-32)

    • “Ndifuka omwoyo gwange” (28)

    • Ebyewuunyisa mu ggulu ne ku nsi (30)

    • Abo abakoowoola erinnya lya Yakuwa balirokolebwa (32)

2  “Mufuuwe eŋŋombe mu Sayuuni!+ Mulaye enduulu z’olutalo ku lusozi lwange olutukuvu. Abantu bonna ababeera mu nsi ka bakankane,Kubanga olunaku lwa Yakuwa lujja!+ Luli kumpi!   Lunaku lwa kizikiza eky’amaanyi,+Lunaku lwa bire ebikutte,+Lulinga ekitangaala ekimulisa ku nsozi ng’obudde bukya. Waliwo eggwanga eddene era ery’amaanyi;+Tewabangawo lirifaanana,Era tewalibaawo ddala liriba nga lyoMu mirembe gyonna egiriddawo.   Mu maaso gaalyo omuliro gugenda gwokya,Era emabega waalyo ennimi z’omuliro zigenda zisaanyaawo.+ Ensi eri mu maaso gaalyo eringa olusuku Edeni,+Naye emabega waalyo eriyo ddungu jjereere,Era tewali kiyinza kuwonawo.   Lifaanana ng’embalaasi,Era badduka ng’embalaasi ez’olutalo.+   Bawuuma ng’amagaali ag’olutalo nga babuukira ku ntikko z’ensozi,+Era ng’omuliro ogubuubuuka ogwokya ebisubi. Balinga abantu ab’amaanyi abasimbye ennyiriri okulwana.+   Balireetera amawanga okuba mu bulumi. Okutya kulyeyoleka mu maaso g’abantu bonna.   Bafubutuka ng’abalwanyi. Balinnya bbugwe ng’abasirikale. Buli omu tava mu kkubo lye,Era buli omu tawuguka kuva mu mpenda ze.   Tebasindikagana;Buli omu atambulira mu kkubo lye. Eby’okulwanyisa bwe bisuula abamu,Abalala basigala bakyeyongerayo.   Bafubutuka ne bayingira ekibuga, baddukira ku bbugwe. Bawalampa amayumba, bayingirira mu madirisa ng’ababbi. 10  Ensi ekankanira mu maaso gaabwe, n’eggulu liyuuguuma. Enjuba n’omwezi bikutte ekizikiza,+N’emmunyeenye tezikyayaka. 11  Yakuwa alyogera eri abasirikale be+ mu ddoboozi ery’omwanguka, kubanga eggye lye ddene nnyo.+ Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi;Olunaku lwa Yakuwa lukulu era lwa ntiisa nnyo.+ Ani ayinza okulugumira?”+ 12  Bw’ati Yakuwa bw’agamba nti, “Kale kaakano mudde gye ndi n’omutima gwammwe gwonna,+Nga musiiba,+ nga mukaaba, era nga mukuba ebiwoobe. 13  Muyuze emitima gyammwe+ so si byambalo byammwe,+Mudde eri Yakuwa Katonda wammwe,Kubanga wa kisa era musaasizi, alwawo okusunguwala+ era alina okwagala kungi okutajjulukuka,+Era alyerowooza* ku kabi k’ayagala okuleeta ku bantu be. 14  Ani amanyi obanga alireka obusungu bwe ne yeerowooza*+N’alekawo omukisa,Ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa eby’okuwaayo eri Yakuwa Katonda wammwe? 15  Mufuuwe eŋŋombe mu Sayuuni! Mulangirire* okusiiba; muyite olukuŋŋaana olw’enjawulo.+ 16  Mukuŋŋaanye abantu; mutukuze ekibiina.+ Mukuŋŋaanye abasajja abakadde; mukuŋŋaanye abaana abato n’abo abakyayonka.+ Omugole omusajja ave mu kisenge kye eky’omunda, n’omugole omukazi naye ave mu kisenge kye. 17  Bakabona, abaweereza ba YakuwaKa bakaabire wakati w’ekisasi n’ekyoto+ nga bagamba nti: ‘Kwatirwa abantu bo ekisa, Ai Yakuwa;Obusika bwo tobufuula kintu ekinyoomebwa,Ng’oleka amawanga okubafuga. Lwaki amawanga gandibuuzizza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”’+ 18  Awo Yakuwa alikwatibwa obuggya olw’ensi yeN’asaasira abantu be.+ 19  Yakuwa aligamba abantu be nti: ‘Laba mbawa emmere ey’empeke n’omwenge omusu n’amafuta,Era mulikkutira ddala;+Siriddamu nate kubafuula kivume mu mawanga.+ 20  Ndigobera wala oyo ow’ebukiikakkono ave we muli;Ndimusaasaanyiza mu nsi enkalu eyafuuka amatongo,Ng’ekitundu eky’omu maaso kyolekedde ennyanja ey’ebuvanjuba,*Ate ng’eky’emabega kyolekedde ennyanja ey’ebugwanjuba.* Aliwunya,Era ekivundu ekirimuvaamu kiryambuka waggulu;+Kubanga Katonda alikola ebintu eby’ekitalo.’ 21  Totya ggwe ensi. Sanyuka era ojaganye, kubanga Yakuwa alikola ebintu eby’ekitalo. 22  Temutya mmwe ensolo ez’oku ttale,Kubanga omuddo gw’omu ddungu gulibeera gwa kiragala.+ Emiti giribala ebibala;+Omutiini n’omuzabbibu giribala nnyo.+ 23  Mmwe abaana ba Sayuuni musanyuke era mujaganye olw’ebyo Yakuwa Katonda wammwe by’alibakolera;+Kubanga alibawa enkuba eya ddumbi mu kigero ekituufu,Era alibatonnyeseza enkuba nnyingi,Enkuba eya ddumbi n’enkuba eya ttoggo, nga bwe kyabanga mu kusooka.+ 24  Amawuuliro galijjula emmere ey’empeke,N’amasogolero galijjula ne gabooga omwenge omusu n’amafuta.+ 25  Ndibasasula emyakaEnzige ezibeera mu bibinja n’enzige ezitannamera biwaawaatiro n’enzige ezirya ennyo n’enzige ezivaabira gye zaamala nga zirya ebirime byammwe;Eggye lyange eddene lye nnabasindikira.+ 26  Mulirya ne mukkuta,+Era mulitendereza erinnya lya Yakuwa Katonda wammwe,+Abakoledde ebintu eby’ekitalo;Abantu bange tebaliddamu kuswazibwa.+ 27  Era mulimanya nti ndi wakati mu Isirayiri,+Era nti nze Yakuwa Katonda wammwe+—tewali mulala! Abantu bange tebaliddamu kuswazibwa. 28  Oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange+ ku bantu aba buli ngeri,Era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi,Abasajja bammwe abakadde baliroota ebirooto,N’abavubuka bammwe balyolesebwa.+ 29  Era n’abaddu bange abasajja n’abakaziNdibafukako omwoyo gwange mu nnaku ezo. 30  Era ndikola ebintu ebyewuunyisa* ku ggulu ne ku nsi. Walibaawo omusaayi n’omuliro n’empagi ez’omukka.+ 31  Enjuba erifuuka kizikiza, n’omwezi gulifuuka musaayi+Ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa lunaatera okutuuka,+ 32  Era buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa;+Kubanga walibaawo abaliwonawo+ ku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi, nga Yakuwa bw’agambye,Abo abaliwonawo Yakuwa b’ayita.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “alyejjusa.”
Oba, “ne yejjusa.”
Obut., “Mutukuze.”
Ennyanja Enfu.
Ennyanja Meditereniyani.
Oba, “obubonero.”