Yoweeri 3:1-21
3 “Kubanga laba! mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo,Bwe ndikomyawo ab’omu Yuda ne Yerusaalemi abaawambibwa,+
2 Ndikuŋŋaanya amawanga gonnaNe ngatwala mu Kiwonvu kya Yekosafaati.*
Eyo gye ndigasalira omusango+Ku lw’abantu bange era obusika bwange Isirayiri,Kubanga baabasaasaanya mu mawanga,Era baagabana ensi yange.+
3 Baakubira abantu bange obululu okubagabana;+Baawangayo omwana ow’obulenzi bafune malaaya,N’omwana ow’obuwala baamutundanga bafune omwenge banywe.
4 Kiki kye munvunaana,Ggwe Ttuulo ne Sidoni nammwe mmwenna ebitundu bya Bufirisuuti?
Nnina kye nnabakola kye munneesasuza?
Bwe muba nga munneesasuza,Mu bwangu ddala nange nja kubakola nga bwe mukoze.+
5 Kubanga mututte ffeeza wange ne zzaabu wange,+Era mututte mu yeekaalu zammwe ebintu byange ebisingayo obulungi;
6 Abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi mubaguzizza Abayonaani,+Musobole okubaggya mu nsi yaabwe mubatwale ewala;
7 Laba, ndibakomyawo okuva gye mwabatunda,+Era nammwe ndibakola nga bwe mukoze.
8 Abaana bammwe ab’obulenzi n’ab’obuwala ndibatunda mu mukono gw’abantu ba Yuda,+Era nabo balibaguza abasajja b’e Seba, eggwanga eriri ewala;Yakuwa kennyini y’akyogedde.
9 Kino mukirangirire mu mawanga:+
‘Mweteekereteekere* olutalo! Mukunge abasajja ab’amaanyi!
Abasirikale bonna ka basembere balumbe!+
10 Enkumbi zammwe muziweeseemu ebitala, n’ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu.
Omunafu k’agambe nti: “Ndi wa maanyi.”
11 Mmwe mmwenna amawanga ageetooloddewo, mujje muyambe era mukuŋŋaane wamu!’”+
Ai Yakuwa, serengesa abalwanyi bo mu kifo ekyo.
12 “Amawanga ka gagolokoke gajje mu Kiwonvu kya Yekosafaati;Kubanga eyo gye nja okutuula nsalire amawanga gonna ageetooloddewo omusango.+
13 Musale n’ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde.
Muserengete musogole, kubanga essogolero lijjudde.+
Amatogero gabooga, kubanga ebintu ebibi bye bakola biyitiridde.
14 Ebibinja, ebibinja by’abantu biri mu kiwonvu eky’okusaliramu omusango,Kubanga olunaku lwa Yakuwa olw’okusalirako omusango mu kiwonvu ekyo luli kumpi okutuuka.+
15 Enjuba n’omwezi birikwata ekizikiza,N’emmunyeenye teziryaka.
16 Yakuwa aliwuluguma ng’ayima mu Sayuuni,Aliyimusa eddoboozi lye ng’ayima mu Yerusaalemi.
Eggulu n’ensi biriyuuguuma;Naye Yakuwa aliba kiddukiro eri abantu be,+Aliba kigo eri abantu ba Isirayiri.
17 Era mulimanya nti nze Yakuwa Katonda wammwe, abeera mu Sayuuni, olusozi lwange olutukuvu.+
Yerusaalemi kirifuuka kifo kitukuvu,+Era abantu be mutamanyi* tebaliddamu kukiyitamu.+
18 Mu kiseera ekyo ensozi ziritonnya omwenge omusu,+Obusozi bulikulukuta amata,N’obugga bw’omu Yuda bwonna bulikulukuta amazzi.
Ensulo y’amazzi erikulukuta+ okuva mu nnyumba ya YakuwaN’efukirira Ekiwonvu ky’Emiti gya Sita.
19 Naye Misiri erifuuka matongo,+Ne Edomu erifuuka ddungu era matongo,+Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwa ku bantu ba Yuda;+Baayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi ya Yuda.+
20 Naye mu Yuda mwo munaabeerangamu abantu,Ne mu Yerusaalemi munaabeerangamu abantu emirembe n’emirembe.+
21 Ndibaggyako omusango gw’okuyiwa omusaayi gwe nnali mbavunaana;+Yakuwa ajja kubeeranga mu Sayuuni.”+