Zabbuli 101:1-8
Zabbuli ya Dawudi. Oluyimba.
101 Nja kuyimba ku kwagala okutajjulukuka n’obwenkanya.
Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza, Ai Yakuwa.
2 Nja kwoleka amagezi mu bye nkola era nfube okulaba nti sibaako kya kunenyezebwa.*
Onojja ddi gye ndi?
Nja kutambula n’omutima omugolokofu+ munda mu nnyumba yange.
3 Sijja kussa mu maaso gange kintu kyonna ekitalina mugaso.
Nkyawa ebikolwa by’abo abawaba ne bava ku kituufu;+Nja kubyewalira ddala.*
4 Omuntu ow’omutima ogwakyama amba wala.
Sijja kukkiriza* kintu kyonna kibi.
5 Omuntu yenna awaayiriza muliraanwa we mu kyama,+Nja kumusirisa.*
Omuntu yenna ow’amaaso ag’amalala era ow’omutima ogwekulumbazaSijja kumugumiikiriza.
6 Nja kweyuna abeesigwa abali mu nsi,Babeere nange.
Oyo ataliiko kya kunenyezebwa* y’anampeerezanga.
7 Omuntu yenna omukuusa taabeerenga mu nnyumba yange,Era omuntu yenna omulimba taayimirirenga mu maaso gange.
8 Buli ku makya nja kusirisa* ababi bonna abali mu nsi.
Nja kusaanyaawo abakozi b’ebibi bonna mu kibuga kya Yakuwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “nfube okulaba nti nkuuma obugolokofu.”
^ Oba, “Ebikolwa byabwe tebinneekwatako.”
^ Obut., “kumanya.”
^ Oba, “nja kumuggyawo.”
^ Oba, “Oyo atambulira mu bugolokofu.”
^ Oba, “nja kuggyawo.”