Zabbuli 104:1-35
104 Ka ntendereze Yakuwa.+
Ai Yakuwa Katonda wange, oli wa kitalo nnyo.+
Oyambadde ekitiibwa n’obulungi.+
2 Weezingiridde ekitangaala+ ng’eyeezingiridde olugoye;Oyanjuluza eggulu ng’omutanda gwa weema.+
3 Ye ggwe azimba ebisenge byo ebya waggulu mu mazzi agali waggulu,*+Ofuula ebire eggaali lyo,+Otambulira ku biwaawaatiro by’empewo.+
4 Bamalayika bo obafuula myoyo,Abaweereza bo obafuula muliro ogusaanyaawo.+
5 Wateeka ensi ku misingi gyayo;+Teriggibwa mu kifo kyayo* emirembe n’emirembe.+
6 Wagibikka amazzi amangi ng’agibikkako olugoye.+
Amazzi gaabuutikira ensozi.
7 Waboggola ne gadduka;+Gaawulira okubwatuka kwo ne gaduma
8 —Ensozi zaayambuka+ ate ebiwonvu ne bikka—Mu bifo bye wabiteerawo.
9 Wagateerawo ensalo gye gatalina kusukka,+Galeme okuddamu okubikka ensi nate.
10 Osindika ensulo mu biwonvu;Zikulukutira wakati w’ensozi.
11 Ziwa ensolo zonna ez’omu nsiko amazzi;Endogoyi ez’omu nsiko zinywa ne ziwona ennyonta.
12 Ebinyonyi bizimba ebisu mu miti egiri okumpi n’amazzi ago;Biyimbira mu matabi gaagyo.
13 Ofukirira ensozi ng’oyima mu bisenge byo ebya waggulu.+
Ensi ejjudde ebibala by’emirimu gyo.+
14 Ente ozimereza omuddo,N’abantu obamereza ebimera bye beetaaga,+Okola bw’otyo emmere esobole okukula okuva mu ttaka,
15 Awamu n’omwenge ogusanyusa emitima gy’abantu,+N’amafuta aganyiriza mu maaso,N’emmere ebeesaawo omutima gw’abantu.+
16 Emiti gya Yakuwa gifuna amazzi mangi,Emiti gy’entolokyo egy’omu Lebanooni gye yasimba,
17 Ebinyonyi mwe bizimba ebisu.
Mu miti egy’emiberosi enkoonamasonko+ mwe zibeera.
18 Ensozi empanvu za mbuzi ez’oku nsozi;+Mu njazi obumyu obw’omu njazi mwe bwekweka.+
19 Wakola omwezi okulaga ebiseera;Enjuba emanyi bulungi ddi lw’erina okugwa.+
20 Oleeta enzikiza obudde ne buziba,+Ensolo zonna ez’omu bibira ne zitandika okutambulatambula.
21 Empologoma envubuka ziwuluguma nga ziyigga eky’okulya,+Era zinoonya eky’okulya Katonda ky’anaaziwa.+
22 Enjuba bw’evaayo,Nga zigenda zigalamira mu bisulo byazo.
23 Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe,Ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa!+
Byonna wabikola n’amagezi.+
Ensi ejjudde ebintu bye wakola.
25 Waliwo ennyanja ennene ennyo,Erimu ebiramu ebitabalika, ebinene n’ebitono.+
26 Okwo ebyombo kwe bitambulira,Ne Leviyasani,*+ gye wakola okuzannyira omwo.
27 Byonna birindirira ggwe,Obiwe emmere mu kiseera ekituufu.+
28 Gy’obiwa gye birya.+
Bw’oyanjuluza engalo zo, nga bifuna ebintu ebirungi bingi.+
29 Bw’okweka obwenyi bwo, nga bisoberwa.
Bw’obiggyako omwoyo gwabyo, nga bifa nga biddayo mu nfuufu.+
30 Bw’osindika omwoyo gwo, nga bitondebwa,+Era ensi n’ogizza buggya.
31 Ekitiibwa kya Yakuwa kya kubaawo emirembe n’emirembe.
Yakuwa ajja kusanyukira emirimu gye.+
32 Atunuulira ensi n’ekankana;Akwata ku nsozi ne zinyooka.+
33 Nja kuyimbira Yakuwa+ obulamu bwange bwonna;Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Katonda wange ekiseera kyonna kye nnaamala nga ndi mulamu.+
34 Ebirowoozo byange ka bimusanyusenga.*
Nja kusanyukiranga mu Yakuwa.
35 Aboonoonyi bajja kuggwaawo mu nsi,Era ababi bajja kuba tebakyaliwo.+
Ka ntendereze Yakuwa. Mutendereze Ya!*
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “mu mazzi.”
^ Oba, “Terisagaasagana.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ebyo bye mmulowoozaako ka bibeere nga bisanyusa.”
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.