Zabbuli 109:1-31

  • Essaala y’omusajja ali mu buyinike

    • ‘Omulimu gwe omulala k’agutwale’ (8)

    • Katonda ayimirira ku mukono gw’omunaku ogwa ddyo (31)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. Luyimba. 109  Ai Katonda gwe ntendereza,+ tosirika.   Kubanga ababi n’abalimba banjogerako ebibi. Banjogerako eby’obulimba;+   Banneetooloola ne boogera ebigambo ebinnumya;Bannumba awatali nsonga.+   Wadde mbaagala, bo bankyawa;+Naye nze nneeyongera kusaba.   Mu birungi bansasulamu bibi,+Mu kwagala ne bansasulamu obukyayi.+   Omuntu omubi k’amulamule;Omulabe* k’ayimirire ku mukono gwe ogwa ddyo.   Omusango ka gumusinge ng’awozesebwa,N’okusaba kwe ka kutwalibwe ng’ekibi.+   Ennaku ze ka zibe ntono;+Omulimu gwe ogw’obulabirizi omulala k’agutwale.+   Abaana* be ka bafuuke bamulekwa,Ne mukazi we k’afuuke nnamwandu. 10  Abaana* be ka babeere bakireereesi abasabiriza,Banoonyenga emmere nga bava mu bifulukwa mwe babeera. 11  Amubanja k’amutwaleko byonna by’alina,Era n’abantu b’atamanyi ka banyage ebintu bye. 12  Ka waleme kubaawo amulaga ekisa,*Era ka waleme kubaawo asaasira abaana b’alese nga bamulekwa. 13  Bazzukulu be ka bazikirizibwe;+Erinnya lyabwe ka lisangulibwewo mu mulembe ogumu. 14  Yakuwa k’ajjukire ensobi za bajjajjaabe,+Era ekibi kya nnyina ka kireme kusangulwawo. 15  Yakuwa k’ajjukirenga bye bakoze;K’aggirewo ddala mu nsi kye bayinza okujjuukirirwako.+ 16  Kubanga omuntu oyo teyajjukira kulaga kisa,*+Naye yanoonya omuntu anyigirizibwa,+ omwavu, era amenyese omutima,Amutte.+ 17  Yayagalanga nnyo okukolimira abalala naye ebikolimo ne bimuddira;Teyayagalizanga balala mikisa era naye teyagifuna. 18  Yayambala ebikolimo ng’ayambala olugoye. Era byayiibwa mu mubiri gwe ng’amazzi,Ne mu magumba ge ng’amafuta. 19  Ebikolimo bye ka bibeere ng’olugoye lwe yeezingirira+Era ka bibeere ng’omusipi gwe yeesiba bulijjo. 20  Ekyo Yakuwa ky’asasula omulabe wange,+N’abo abanjogerako ebibi. 21  Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna,Nnyamba olw’erinnya lyo.+ Nnunula, kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kulungi.+ 22  Ndi munaku era seesobola,+Era omutima gwange gufumitiddwa.+ 23  Nzigwaawo ng’ekisiikirize ekigenda kivaawo;Nsammuddwa eri ng’enzige. 24  Amaviivi gange gatendewaliddwa olw’okusiiba,Omubiri gwange gunyaaluse, era nkozze mpeddewo. 25  Banvuma.+ Bwe bandaba, banyeenya emitwe.+ 26  Nnyamba, Ai Yakuwa Katonda wange;Ndokola olw’okwagala kwo okutajjulukuka. 27  Ka bamanye nti omukono gwo gwe gukikoze;Nti ggwe, Ai Yakuwa, ggwe akikoze. 28  Ka bakolime, naye ggwe k’ompe omukisa. Bwe basituka okunnwanyisa ka baswale,Naye omuweereza wo k’ajaganye. 29  Abalabe bange ka bambale obuswavu;Ensonyi zaabwe ka zibabikke ng’olugoye.*+ 30  Akamwa kange kajja kutendereza nnyo Yakuwa;Nja kumutenderereza mu maaso g’abantu abangi.+ 31  Kubanga ajja kuyimirira ku mukono gw’omunaku ogwa ddyoOkumuwonya abo abamusalira omusango.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Amulumiriza.”
Obut., “Batabani.”
Obut., “Batabani.”
Oba, “okwagala okutajjulukuka.”
Oba, “kwagala okutajjulukuka.”
Oba, “ng’ekizibaawo ekitaliiko mikono.”