Zabbuli 11:1-7
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
11 Nzirukidde eri Yakuwa.+
Kale muyinza mutya okuŋŋamba nti:
“Dduka ng’ekinyonyi ogende ku lusozi lwo!*
2 Laba ababi bwe baweta omutego;Akasaale kaabwe bakateeka ku kaguwa k’omutego,Balasize mu nzikiza abo abalina omutima omugolokofu.
3 Emisingi* bwe gimenyebwa,Kiki abatuukirivu kye bayinza okukola?”
4 Yakuwa ali mu yeekaalu ye entukuvu.+
Entebe ya Yakuwa eri mu ggulu.+
Amaaso ge geetegereza abaana b’abantu.+
5 Yakuwa yeetegereza omutuukirivu n’omubi;+Akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.+
6 Ajja kutonnyesa ku babi ebyambika;*Omuliro n’amayinja agookya+ n’embuyaga eyokya bye bijja okuba omugabo gw’ekikopo kyabwe.
7 Yakuwa mutuukirivu+ era ayagala ebikolwa eby’obutuukirivu.+
Abagolokofu alibalaga ekisa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Mudduke ng’ebinyonyi mugende ku lusozi lwammwe.”
^ Oba, “Emisingi gy’obwenkanya.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “amanda agaaka.”