Zabbuli 113:1-9

  • Katonda abeera waggulu, ayimusa omunaku

    • Erinnya lya Yakuwa litenderezebwa emirembe gyonna (2)

    • Katonda akutama (6)

113  Mutendereze Ya!* Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze,Mutendereze erinnya lya Yakuwa.   Erinnya lya Yakuwa litenderezebweOkuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.+   Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe+Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.   Yakuwa ali waggulu okusinga amawanga gonna;+Ekitiibwa kye kiri waggulu okusinga eggulu.+   Ani alinga Yakuwa Katonda waffe,+Abeera* waggulu?   Akutama n’atunuulira eggulu n’ensi,+   N’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu. Ayimusa omwavu n’amuggya mu ntuumu y’evvu,*+   Okumutuuza n’ab’ebitiibwa,N’ab’ebitiibwa mu bantu be.   Awa omukazi omugumba amaka,N’afuna abaana* n’aba musanyufu.+ Mutendereze Ya!*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
Oba, “Atuula ku ntebe y’obwakabaka.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ku kasasiro.”
Obut., “abaana ab’obulenzi.”
Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.