Zabbuli 138:1-8

  • Wadde nga Katonda wa waggulu, afaayo

    • Waddamu okusaba kwange (3)

    • ‘Ne bwe mba mu kifo ekirimu akabi, ondokola’ (7)

Zabbuli ya Dawudi. 138  Nja kukutendereza n’omutima gwange gwonna.+ Mu maaso ga bakatonda abalala,Nja kuyimba ennyimba ezikutendereza.   Nja kuvunnama nga ntunudde eri yeekaalu yo entukuvu;*+Nja kutendereza erinnya lyo,+Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo. Kubanga ogulumizza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu ebirala byonna.*   Ku lunaku lwe nnakukoowoola, wannyanukula;+Wampa obuvumu era n’onfuula wa maanyi.+   Bakabaka b’ensi bonna balikutendereza, Ai Yakuwa,+Kubanga baliba bawulidde bye wasuubiza.   Baliyimba ku makubo ga Yakuwa,Kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kingi nnyo.+   Wadde nga Yakuwa wa waggulu nnyo, alowooza ku beetoowaze,+Naye ab’amalala abeesamba.+   Ne bwe ntambulira mu kifo ekirimu akabi, onkuuma ne nsigala nga ndi mulamu.+ Ogolola omukono gwo n’olwanyisa abalabe bange abasunguwadde;Omukono gwo ogwa ddyo gujja kundokola.   Yakuwa ajja kukola ebintu byonna ku lwange. Ai Yakuwa, okwagala kwo okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe;+Toleka mirimu gya mikono gyo.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ekifo kyo ekitukuvu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ogulumizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo.”