Zabbuli 140:1-13
Eri akulira eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
140 Ai Yakuwa, nnunula mu mikono gy’abantu ababi;Mponya abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe,+
2 Abo abateekateeka mu mitima gyabwe okukola ebintu ebibi,+Era abawakula entalo okuzibya obudde.
3 Bawagala olulimi lwabwe ne luba ng’olw’omusota;+Mu kamwa kaabwe mulimu obusagwa bw’emisota.+ (Seera)
4 Ai Yakuwa, ntaasa mu mikono gy’abantu ababi;+Mponya abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe,Abo abasala enkwe okunsuula.
5 Ab’amalala bantega omutego;Baaliirira ekitimba eky’emiguwa ku mabbali g’ekkubo.+
Banteerawo ebyambika.+ (Seera)
6 Ŋŋamba Yakuwa nti: “Ggwe Katonda wange.
Ai Yakuwa, wulira okuwanjaga kwange.”+
7 Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna, Omulokozi wange ow’amaanyi,Okuuma omutwe gwange ku lunaku olw’olutalo.+
8 Ai Yakuwa, ababi tobawa bye baagala.
Toganya nkwe zaabwe kutuukirira, baleme okwegulumiza.+ (Seera)
9 Emitwe gy’abo abanneetooloddeGibikkibwe ebintu ebibi emimwa gyabwe bye gyogera.+
10 Amanda agaaka ka gabatonnyeko.
Ka bakasukibwe mu muliro,+Mu binnya ebiwanvu ennyo,*+ baleme kuddamu kuyimuka nate.
11 Omuntu awaayiriza k’abulweko ekifo w’abeera mu nsi.+
Ebintu ebibi ka biwondere abantu abakola ebikolwa eby’obukambwe era bibazikirize.
12 Mmanyi nti Yakuwa ajja kulwanirira abanaku,Era akakase nti abaavu bayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya.+
13 Abatuukirivu bajja kutendereza erinnya lyo;Abagolokofu bajja kubeera mu maaso go.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Mu binnya ebirimu amazzi.”