Zabbuli 142:1-7

  • Asaba Katonda amununule mu mikono gy’abo abamuyigganya

    • “Sirina we nnyinza kuddukira” (4)

    • “Ggwe wekka gwe nnina” (5)

Masukiri. Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu mpuku.+ Essaala. 142  Nkoowoola Yakuwa annyambe;+Nneegayirira Yakuwa ankwatirwe ekisa.   Mmutegeeza byonna ebinneeraliikiriza;Mmubuulira ebinnakuwaza+   Bwe mba mpeddemu amaanyi. Otunuulira ekkubo lyange.+ Batega omutegoMu kkubo lye mpitamu.   Tunula ku mukono gwange ogwa ddyo olabeNti tewali anfaako.+ Sirina we nnyinza kuddukira;+Tewali n’omu annumirirwa.   Ai Yakuwa, nkuwanjagira. Ŋŋamba nti: “Oli kiddukiro kyange,+Ggwe wekka gwe nnina* mu nsi y’abalamu.”   Wuliriza okuwanjaga kwange,Kubanga ndi mu buyinike bwa maanyi. Nnunula mu mikono gy’abo abanjigganya,+Kubanga bansinga amaanyi.   Nzigya mu kaduukuluNsobole okutendereza erinnya lyo. Abatuukirivu ka banneetoolooleKubanga ondaze ekisa.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ggwe mugabo gwange.”