Zabbuli 23:1-6

  • “Yakuwa ye musumba wange”

    • “Siijulenga kintu kyonna” (1)

    • “Anzizaamu amaanyi” (3)

    • “Ekikopo kyange kijjudde bulungi” (5)

Zabbuli ya Dawudi. 23  Yakuwa ye musumba wange.+ Siijulenga kintu kyonna.+   Angalamiza awali omuddo omungi;Antwala mu bifo eby’okuwummuliramu omuli amazzi amangi.*+   Anzizaamu amaanyi.+ Ankulembera mu makubo* ag’obutuukirivu olw’erinnya lye.+   Ne bwe ntambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza,+Sirina kabi ke ntya,+Kubanga oli nange;+Omuggo gwo guŋŋumya.*   Ontegekera emmeeza mu maaso g’abalabe bange.+ Onsiiga amafuta ku mutwe;+Ekikopo kyange kijjudde bulungi.+   Mazima ddala obulungi bwo n’okwagala okutajjulukuka bijja kungoberera ennaku zonna ez’obulamu bwange,+Era nnaabeeranga mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zange zonna.+

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “amazzi amateefu.”
Obut., “mu bukubo.”
Oba, “gumbudaabuda.”