Zabbuli 34:1-22
Zabbuli ya Dawudi; bwe yeefuula ng’omulalu+ ng’ali mu maaso ga Abimereki eyamugoba n’agenda.
א [Alefu]
34 Nnaatenderezanga Yakuwa ekiseera kyonna;Ettendo lye linaabanga ku mimwa gyange buli kaseera.
ב [Besu]
2 Nja kwenyumiririza mu Yakuwa;+Abawombeefu bajja kuwulira basanyuke.
ג [Gimeri]
3 Mugulumize Yakuwa wamu nange;+Ka tutenderereze wamu erinnya lye.
ד [Dalesi]
4 Nnasaba Yakuwa n’addamu okusaba kwange.+
Yamponya byonna ebyali bintiisa.+
ה [Ke]
5 Abo abaali bamwesiga baasanyuka;Tebaaswala.
ז [Zayini]
6 Omunaku ono yakoowoola, Yakuwa n’amuwulira.
Yamuwonya ennaku ye yonna.+
ח [Kesu]
7 Malayika wa Yakuwa asiisira okwetooloola abo bonna abatya Katonda,+Era abanunula.+
ט [Tesu]
8 Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi;+Alina essanyu oyo addukira gy’ali.
י [Yodi]
9 Mutye Yakuwa mmwe mmwenna abatukuvu be,Kubanga abo abamutya tebalina kye bajula.+
כ [Kafu]
10 Empologoma envubuka ez’amaanyi oluusi zirumwa enjala;Naye abanoonya Yakuwa tebaajulenga kirungi kyonna.+
ל [Lamedi]
11 Mujje baana bange mumpulirize;Nja kubayigiriza okutya Yakuwa.+
מ [Memu]
12 Ani ku mmwe ayagala obulamu,Era ayagala okuwangaala alabe ebirungi?+
נ [Nuni]
13 Kale ziyiza olulimi lwo luleme okwogera ebintu ebibi,+Ziyiza emimwa gyo gireme kwogera bya bulimba.+
ס [Sameki]
14 Weewale ebibi okolenga ebirungi;+Noonyanga emirembe era ogigobererenga.+
ע [Ayini]
15 Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu,+N’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.+
פ [Pe]
16 Naye Yakuwa yeesambira ddala abo abakola ebibi,Ajja kubazikiriza waleme kubaawo abajjukira ku nsi.+
צ [Sade]
17 Abatuukirivu baakoowoola Yakuwa n’abawulira;+Yabawonya ennaku yaabwe yonna.+
ק [Kofu]
18 Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese;+Alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.*+
ר [Lesu]
19 Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi,+Naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.+
ש [Sini]
20 Akuuma amagumba ge gonna;Tewali na limu ku go limenyeddwa.+
ת [Tawu]
21 Akabi kalitta ababi;Abo abakyawa abatuukirivu balibaako omusango.
22 Yakuwa anunula obulamu bw’abaweereza be;Tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibaako omusango.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “abo abaweddemu amaanyi.”