Zabbuli 41:1-13

  • Essaala y’omulwadde ali ku ndiri

    • Katonda alabirira abalwadde (3)

    • Okuliibwamu olukwe ow’omukwano ow’oku lusegere (9)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi. 41  Alina essanyu oyo afaayo ku munaku;+Yakuwa alimununula ku lunaku olw’obuyinike.   Yakuwa anaamukuumanga era n’amubeesaawo nga mulamu. Anaayitibwanga musanyufu mu nsi;+Toomuwengayo eri abalabe be.+   Yakuwa anaamulabiriranga ng’ali ku ndiri;+Onookyusiza ddala obuliri bwe nga mulwadde.   Nnagamba nti: “Ai Yakuwa, nkwatirwa ekisa.+ Mponya,+ kubanga nnyonoonye mu maaso go.”+   Naye abalabe bange banjogerako bubi nga bagamba nti: “Anaafa ddi yeerabirwe?”   Omu ku balabe bange bw’ajja okundaba, omutima gwe gwogera eby’obulimba. Anoonya ekintu ekibi eky’okwogera;Era n’agenda n’akisaasaanya.   Abo bonna abatanjagala boogera obwama;Bankolera olukwe ne bagamba nti:   “Ekintu ekibi ennyo kimutuuseeko;Kati agidde abeere wansi, tajja kuddamu kuyimuka.”+   Ne mukwano gwange ennyo gwe mbadde nneesiga,+Era abadde alya ku mmere yange, anneefuulidde.*+ 10  Naye ggwe, Ai Yakuwa, nkwatirwa ekisa onnyimuse,Ndyoke mbeesasuze. 11  Ku kino kwe nnaategeerera nti onsiima: Abalabe bange bwe banaaba nga tebasobola kumpangula ne bajaganya.+ 12  Ompaniridde olw’obugolokofu bwange;+Ojja kunteeka mu maaso go emirembe gyonna.+ 13  Yakuwa Katonda wa Isirayiri atenderezebweEmirembe n’emirembe.*+ Amiina, era Amiina.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “annyimusirizza ekisinziiro.”
Oba, “Okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”