Zabbuli 44:1-26

  • Essaala y’oyo eyeetaaga obuyambi

    • “Ggwe watuwonya” (7)

    • ‘Twali ng’endiga ez’okusalibwa’ (22)

    • “Situka otuyambe!” (26)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+ Masukiri.* 44  Ai Katonda, twawulira n’amatu gaffe,Bajjajjaffe baatubuulira+Bye wakola mu kiseera kyabwe,Mu biseera eby’edda.   Wagoba amawanga n’omukono gwo,+We gaali n’osenzaawo bajjajjaffe.+ Wafufuggaza amawanga era n’ogagoba.+   Ekitala kyabwe si kye kyabasobozesa okutwala ensi,+Era omukono gwabwe si gwe gwabatuusa ku buwanguzi.+ Wabula gwali mukono gwo ogwa ddyo, n’amaanyi go,+ n’ekisa kyo.* Kubanga wali obaagala.+   Ggwe Kabaka wange, Ai Katonda;+Sobozesa Yakobo okuwangulira ddala.   Olw’amaanyi go abalabe baffe tujja kubazza emabega;+Mu linnya lyo tujja kulinnyirira abo abatulumba.+   Omutego gwange ogw’obusaale si gwe nneesiga,Era ekitala kyange tekiyinza kundokola.+   Ggwe watuwonya abalabe baffe,+Ggwe wafeebya abo abatatwagala.   Tujja kutendereza Katonda okuzibya obudde,Era tujja kutendereza erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)   Naye kaakano otusudde eri era n’otufeebya,Era togenda naffe mu lutalo. 10  Otuleetera okudduka abalabe baffe;+Abo abatatwagala batwala buli kye baagala. 11  Otuwaayo okuliibwa ng’endiga;Otusaasaanyizza mu mawanga.+ 12  Abantu bo obatunda omuwendo mutono nnyo;+Tobafunamu magoba. 13  Otufuula kivume eri baliraanwa baffe,Eky’okuyeeya era eky’okusekererwa eri abo bonna abatwetoolodde. 14  Otufuula ekintu ekinyoomebwa* amawanga,+Ekyo abantu kye banyeenyeza emitwe. 15  Olunaku lwonna mpulira nga mpeebuuse,Era obuswavu bumpitirirako, 16  Olw’eddoboozi ly’abo abanjeeya era abanvuma,Olw’omulabe waffe awoolera eggwanga. 17  Bino byonna bitutuuseeko, kyokka tetukwerabidde,Era tetumenye ndagaano yo.+ 18  Omutima gwaffe tegukyamye;Ebigere byaffe tebiwaba kuva mu kkubo lyo. 19  Naye otubetentedde mu kifo ebibe we bibeera;Otubisse ekizikiza ekikutte. 20  Bwe tuba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe,Oba nga tuyimusa emikono gyaffe ne tusaba katonda omulala, 21  Katonda taakitegeere? Amanyi ebyama ebiri mu mutima.+ 22  Ku lulwo tuttibwa okuzibya obudde;Tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa.+ 23  Golokoka. Lwaki weebaka, Ai Yakuwa?+ Zuukuka! Totusuula eri emirembe n’emirembe.+ 24  Lwaki weekweka? Lwaki weerabira obuyinike bwaffe n’okubonaabona kwaffe? 25  Tussiddwa mu nfuufu;Emibiri gyaffe ginyigirizibwa ku ttaka.+ 26  Situka otuyambe!+ Tununule olw’okwagala kwo okutajjulukuka.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’ekitangaala ky’obwenyi bwo.”
Obut., “lugero eri.”