Zabbuli 7:1-17
-
Yakuwa Mulamuzi mutuukirivu
-
“Nnamula, Ai Yakuwa” (8)
-
Oluyimba olw’okukungubaga Dawudi lwe yayimbira Yakuwa olw’ebigambo bya Kuusi Omubenyamini.
7 Ai Yakuwa Katonda wange, nzirukidde gy’oli.+
Mponya abo bonna abanjigganya era ndokola.+
2 Baleme kuntaagulataagula ng’empologoma,+Ne bantwala nga tewali n’omu antaasa.
3 Ai Yakuwa Katonda wange, bwe mba nga nze musobya,Bwe mba nga nnakola ebitali bya bwenkanya,
4 Bwe mba nga oyo ankolera ebirungi mmukoze ebibi,+Oba bwe mba nga nnanyaga ebintu by’omulabe wange awatali nsonga,*
5 Omulabe wange k’angobe ankwate;K’anninnyirire ku ttaka nfeEkitiibwa kyange kisaanewo mu nfuufu. (Seera)
6 Situka mu busungu, Ai Yakuwa;Yimuka olwanyise abalabe bange abaswakidde;+Golokoka ku lwange, olagire wabeewo obwenkanya.+
7 Amawanga ka gakwetooloole;Era ojja kugavunaana ng’oyima waggulu.
8 Yakuwa ajja kulamula amawanga.+
Nnamula, Ai Yakuwa, okusinziira ku butuukirivu bwangeN’okusinziira ku bugolokofu bwange.+
9 Nkwegayiridde komya ebikolwa ebibi eby’ababi.
Naye kuuma abatuukirivu,+Kubanga ggwe Katonda omutuukirivu+ akebera emitima+ n’enneewulira.*+
10 Katonda ye ngabo yange,+ era ye Mulokozi w’abo abalina omutima omugolokofu.+
11 Katonda Mulamuzi mutuukirivu,+Buli lunaku Katonda alangirira emisango gy’asalidde ababi.
12 Omuntu bw’ateenenye,+ Katonda awagala ekitala kye;+Aleega omutego gwe ogw’obusaale.+
13 Ateekateeka eby’okulwanyisa bye eby’omutawaana;Ateekateeka obusaale bwe obwakaayakana.+
14 Laba omuntu ali olubuto lw’ebintu ebibi;Afuna olubuto lw’ebintu ebibi n’azaala obulimba.+
15 Asima ekinnya ekiwanvu,Naye n’agwa mu kinnya kyennyini ky’asimye.+
16 Emitawaana gy’aleeta gijja kumuddira,+Ebikolwa eby’obukambwe by’akola bijja kumuddira.
17 Nnaatenderezanga Yakuwa olw’okuba mwenkanya;+Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Yakuwa+ Oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ate nga saatuusa kabi ku oyo anjigganya awatali nsonga.”
^ Oba, “agezesa emitima n’ensigo.”