Zabbuli 71:1-24
71 Ai Yakuwa nzirukidde gy’oli.
Ka nneme kuswala.+
2 Nnyamba era ndokola kubanga oli mutuukirivu.
Ntegera okutu* ondokole.+
3 Beera gye ndi ekigo eky’oku lwaziMwe nnyinza okuyingira bulijjo.
Lagira ndokolebwe,Kubanga ggwe lwazi lwange era ekigo kyange.+
4 Ai Katonda wange, nnunula mu mukono gw’omubi,+Nnunula mu mukono gw’oyo ambonyaabonya.
5 Kubanga ggwe ssuubi lyange, Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna;Nneesiga ggwe okuviira ddala mu buvubuka bwange.+
6 Ggwe gwe nneesigamyeko okuva lwe nnazaalibwa;Ggwe wanzigya mu lubuto lwa mmange.+
Nkutendereza buli kiseera.
7 Eri abantu bangi nfuuse ng’ekyamagero,Naye ggwe kiddukiro kyange.
8 Akamwa kange kajja kwogera+Ku ttendo lyo n’ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9 Tonsuula eri nga nkaddiye;+Tonjabulira ng’amaanyi gampedde.+
10 Abalabe bange banjogerako bubi,Era abo abaagala okunzita beekobaana,+
11 Nga bagamba nti: “Katonda amwabulidde.
Mumugobe mumukwate, kubanga tewali ayinza kumutaasa.”+
12 Ai Katonda, tombeera wala.
Ai Katonda wange, yanguwa onnyambe.+
13 Abo abampalanaKa bakwatibwe ensonyi era bazikirire.+
Abo abaagala ngwe mu kabiKa baswale era bafeebezebwe.+
14 Naye nze nja kweyongera okukulindirira;Nja kwongera okukutendereza.
15 Akamwa kange kajja kwogera ku butuukirivu bwo,+Kajja kwogera ku bikolwa byo eby’obulokozi okuzibya obudde,Wadde nga bingi nnyo era nga sisobola kubitegeera* byonna.+
16 Nja kujja njogere ku bikolwa byo eby’ekitalo,Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna;Nja kwogera ku butuukirivu bwo, obubwo bwokka.
17 Ai Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange,+N’okutuusa kati nkyalangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.+
18 Ai Katonda, ne mu kiseera nga nkaddiye era nga mmeze envi, tonjabulira,+Nsobole okubuulira omulembe oguliddawo ebikwata ku buyinza bwo,*N’abo bonna abaliddawo mbabuulire amaanyi go.+
19 Ai Katonda, obutuukirivu bwo butuuka waggulu nnyo;+Okoze ebintu eby’ekitalo;Ai Katonda, ani alinga ggwe?+
20 Wadde ng’ondeetedde okulaba ennaku nnyingi n’obuyinike obw’amaanyi,+Nzizaamu amaanyi;Nzigya mu buziba bw’ensi.+
21 Ekitiibwa kye nnina kyongereko,Onneetooloole era ombudeebude.
22 Olwo nnaakutendereza nga nkuba ekivuga eky’enkobaOlw’obwesigwa bwo, Ai Katonda wange.+
Nja kukuyimbira ennyimba ezikutendereza nga bwe nkuba entongooli,Ai Ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 Emimwa gyange gijja kwogerera waggulu+ n’essanyu nga nnyimba ennyimba ezikutendereza,Kubanga owonyezza obulamu bwange.*+
24 Olulimi lwange lujja kwogera* ku butuukirivu bwo okuzibya obudde,+Kubanga abo abaagala okunzikiriza bajja kuswala era baweebuuke.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Kutama owulire.”
^ Oba, “kubibala.”
^ Obut., “ku mukono gwo.”
^ Oba, “onunudde obulamu bwange.”
^ Oba, “kufumiitiriza.”