Zabbuli 75:1-10
-
Katonda alamula na bwenkanya
-
Ababi bajja kunywa ku kikopo kya Yakuwa (8)
-
Eri akubiriza eby’okuyimba. Ya ku luyimba “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu.+
75 Tukwebaza, Ai Katonda; tukwebaza;Erinnya lyo liri wamu naffe,+Era abantu balangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.
2 Ogamba nti: “Bwe nteekawo ekiseera,Nnamula mu bwenkanya.
3 Ensi bwe yayuuguuma* awamu n’abagibeeramu bonna,Nze nnanyweza empagi zaayo.” (Seera)
4 Ŋŋamba abeewaana nti, “Temwewaana,”
N’ababi nti, “Temwegulumiza olw’okuba muli ba maanyi.*
5 Temwegulumiza olw’okuba muli ba maanyi nnyo,*Era temwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuvaBuvanjuba oba bugwanjuba oba bukiikaddyo.
7 Katonda ye Mulamuzi.+
Atoowaza omuntu omu ate n’agulumiza omulala.+
8 Yakuwa akutte ekikopo mu mukono gwe;+Omwenge gubimbye ejjovu era gutabuddwa bulungi.
Ajja kugufuka,Era ababi bonna ab’oku nsi bajja kugunywa, awamu n’ebikanja byagwo.”+
9 Naye nze nja kukirangiriranga emirembe gyonna;Nja kuyimbiranga Katonda wa Yakobo ennyimba ezimutendereza.
10 Kubanga agamba nti: “Nja kutemako amayembe g’ababi gonna,Naye amayembe g’abatuukirivu gajja kugulumizibwa.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “bwe yasaanuuka.”
^ Obut., “Temugulumiza jjembe lyammwe.”
^ Obut., “Temugulumiza jjembe lyammwe.”