Zabbuli 86:1-17
Essaala ya Dawudi.
86 Ai Yakuwa, tega okutu kwo* onnyanukule,Kubanga ndi munaku era ndi mwavu.+
2 Kuuma obulamu bwange, kubanga ndi mwesigwa.+
Lokola omuweereza wo akwesiga,Kubanga ggwe Katonda wange.+
3 Nkwatirwa ekisa, Ai Yakuwa,+Kubanga nkukoowoola okuzibya obudde.+
4 Sanyusa omuweereza wo,Kubanga ggwe gwe nneeyuna, Ai Yakuwa.
5 Kubanga ggwe, Ai Yakuwa, oli mulungi+ era oli mwetegefu okusonyiwa;+Abo bonna abakukoowoola obalaga okwagala okutajjulukuka kungi.+
6 Ai Yakuwa, wuliriza essaala yange;Wulira okuwanjaga kwange.+
7 Lwe mba mu buyinike nkukoowoola,+Kubanga onnyanukula.+
8 Ai Yakuwa, mu bakatonda teriiyo alinga ggwe,+Teriiyo bikolwa biringa bibyo.+
9 Amawanga gonna ge wakolaGalijja ne gavunnama mu maaso go, Ai Yakuwa,+Era galigulumiza erinnya lyo.+
10 Oli wa maanyi era okola ebintu ebyewuunyisa;+Ggwe wekka ggwe Katonda.+
11 Ai Yakuwa, njigiriza amakubo go.+
Nja kutambulira mu mazima go.+
Gatta wamu omutima gwange* nsobole okutya erinnya lyo.+
12 Ai Yakuwa Katonda wange, nkutendereza n’omutima gwange gwonna.+
Nja kugulumizanga erinnya lyo emirembe n’emirembe,
13 Kubanga okwagala okutajjulukuka kw’ondaga kungi nnyo.
Obulamu bwange obuwonyezza okukka emagombe.*+
14 Ai Katonda, abantu abeetulinkiriza bannumba,+Ekibinja ky’abantu abakambwe kyagala okusaanyaawo obulamu bwange,Era tebakuwa kitiibwa.*+
15 Naye ggwe, Ai Yakuwa, oli Katonda omusaasizi era ow’ekisa,Alwawo okusunguwala, alina okwagala kungi okutajjulukuka, era omwesigwa ennyo.*+
16 Kyuka gye ndi onkwatirwe ekisa.+
Omuweereza wo muwe amaanyi go,+Era lokola omwana w’omuzaana wo.
17 Ndaga akabonero akalaga* obulungi bwo,Abo abatanjagala bakalabe baswale.
Kubanga, Ai Yakuwa, ggwe annyamba era ggwe ambudaabuda.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “kutama owulire.”
^ Oba, “Mpa omutima oguteeyawuddeemu.”
^ Oba, “tebakutadde mu maaso gaabwe.”
^ Oba, “alina amazima amangi.”
^ Oba, “obukakafu obulaga.”