Zabbuli 89:1-52

  • Okuyimba ku kwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka

    • Endagaano ne Dawudi (3)

    • Ezzadde lya Dawudi lya kuwangaala emirembe gyonna (4)

    • Eyafukibwako amafuta ayita Katonda ‘Kitaawe’ (26)

    • Endagaano ya Dawudi ejja kunywezebwa (34-37)

    • Omuntu tayinza kusimattuka magombe (48)

Masukiri.* Zabbuli ya Esani+ Omwezera. 89  Nnaayimbanga emirembe n’emirembe ku ngeri Yakuwa gy’alagamu okwagala okutajjulukuka. Akamwa kange kanaamanyisanga obwesigwa bwo eri abantu b’emirembe gyonna.   Kubanga ŋŋambye nti: “Okwagala okutajjulukuka kujja kuzimbibwa* emirembe gyonna;+Onywezezza obwesigwa bwo mu ggulu.”   Wagamba nti: “Nkoze endagaano n’oyo gwe nnalonda;+Ndayiridde Dawudi omuweereza wange nti:+   ‘Nja kunyweza ezzadde+ lyo emirembe n’emirembe,Era nja kunyweza entebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.’”+ (Seera)   Eggulu litendereza ebyamagero byo, Ai Yakuwa,Ekibiina ky’abatukuvu kitendereza obwesigwa bwo.   Ani mu ggulu ayinza okugeraageranyizibwa ku Yakuwa?+ Ani mu baana ba Katonda+ alinga Yakuwa?   Katonda atiibwa mu lukiiko* lw’abatukuvu;+Wa kitiibwa era wa ntiisa eri abo bonna abamwetoolodde.+   Ai Yakuwa Katonda ow’eggye,Ani akwenkana amaanyi, Ai Ya?+ Obwesigwa bwo bukwetoolodde.+   Ofuga obusungu bw’ennyanja;+Amayengo gaayo bwe gatumbiira ogakkakkanya.+ 10  Ofufuggazza Lakabu+ n’aba ng’omuntu attiddwa.+ Osaasaanyizza abalabe bo n’omukono gwo ogw’amaanyi.+ 11  Eggulu liryo n’ensi yiyo;+Ettaka ne byonna ebiririko+ ggwe wabikola. 12  Ggwe watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;Taboli+ ne Kerumooni+ zitendereza erinnya lyo n’essanyu. 13  Omukono gwo gwa maanyi;+Engalo zo zirina amaanyi;+Omukono gwo ogwa ddyo gugulumiziddwa.+ 14  Obutuukirivu n’obwenkanya gye misingi gy’entebe yo ey’obwakabaka;+Okwagala okutajjulukuka n’obwesigwa biyimirira mu maaso go.+ 15  Balina essanyu abo abamanyi okukuba emizira.+ Ai Yakuwa, batambulira mu kitangaala ky’amaaso go. 16  Basanyuka okuzibya obudde olw’erinnya lyo,Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo. 17  Kubanga ggwe kitiibwa ky’amaanyi gaabwe,+Era amaanyi gaffe gagulumizibwa* olw’okusiima kwo.+ 18  Yakuwa ye nnannyini ngabo yaffe,Omutukuvu wa Isirayiri ye nnannyini kabaka waffe.+ 19  Mu kiseera ekyo, ng’oyitira mu kwolesebwa, wagamba abo abeesigwa gy’oli nti: “Ow’amaanyi mmuwadde amaanyi;+Ngulumizza oyo eyalondebwa mu bantu.+ 20  Nzudde Dawudi omuweereza wange;+Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu.+ 21  Engalo zange zijja kumuwanirira,+Era omukono gwange gujja kumuwa amaanyi. 22  Tewali mulabe anaamuggyako musolo,Era tewali muntu atali mutuukirivu anaamubonyaabonya.+ 23  Nja kubetenta abalabe be mbaggye mu maaso ge,+Era nja kutta abo abatamwagala.+ 24  Obwesigwa bwange n’okwagala kwange okutajjulukuka biri naye,+Era amaanyi ge gajja* kugulumizibwa mu linnya lyange. 25  Nja kuteeka omukono gwe* ku nnyanja,N’omukono gwe ogwa ddyo ku migga.+ 26  Ajja kunkoowoolanga nti: ‘Ggwe Kitange,Katonda wange, Olwazi olw’obulokozi bwange.’+ 27  Nja kumufuula omwana omubereberye,+Asinga bakabaka b’ensi.+ 28  Nja kumulaga okwagala kwange okutajjulukuka emirembe n’emirembe,+N’endagaano gye nnakola naye terigwa butaka.+ 29  Nja kunyweza ezzadde lye emirembe n’emirembe,Era entebe ye ey’obwakabaka nja kugiwangaaza ng’eggulu.+ 30  Abaana be bwe banaalekanga amateeka gangeEra ne batatambula nga bwe mbalagira, 31  Bwe banaamenyanga amateeka gangeEra ne batakwata biragiro byange, 32  Obujeemu bwabwe nja kububonerezanga n’omuggo+Era nja kubonerezanga ensobi zaabwe nga nzikuba emiggo. 33  Naye sirirekayo kumulaga kwagala kwange okutajjulukuka,+Era sirirema kutuukiriza kye nnasuubiza. 34  Sirimenya ndagaano yange,+Wadde okukyusa ekyo emimwa gyange kye gyayogera.+ 35  Mu butukuvu bwange ndayidde lumu ne mmala,Dawudi sirimulimba.+ 36  Ezzadde lye linaabeerawo emirembe n’emirembe;+Entebe ye ey’obwakabaka enaawangaala ng’enjuba mu maaso gange.+ 37  Ejja kunywezebwa emirembe n’emirembe ng’omwezi,Ng’omujulirwa omwesigwa ali ku ggulu.” (Seera) 38  Naye omusudde eri era omwesambye;+Osunguwalidde oyo gwe wafukako amafuta. 39  Olese endagaano gye wakola n’omuweereza wo;Ojolonze engule ye n’ogisuula ku ttaka. 40  Omenye bbugwe we yenna ow’amayinja;Ebigo bye obifudde bifunfugu. 41  Abayitawo bonna bamunyaga;Afuuse kivume eri baliraanwa be.+ 42  Abalabe be obawadde obuwanguzi;*+Abamukyawa bonna obaleetedde okusanyuka. 43  Ozzizza emabega ekitala kye,Tomuganyizza kuwangula lutalo. 44  Ekitiibwa kye okikomezza,Era entebe ye ey’obwakabaka ogisudde wansi. 45  Okendeezezza ennaku z’obuvubuka bwe;Omwambazza obuswavu. (Seera) 46  Ai Yakuwa, onootuusa wa okwekweka? Oneekweka mirembe na mirembe?+ Obusungu bwo buneeyongera okubuubuuka ng’omuliro? 47  Jjukira nti obulamu bwange bumpi!+ Abantu bonna wabatondera bwereere? 48  Waliwo omuntu omulamu ataliraba kufa?+ Asobola okwetaasa amaanyi g’amagombe?* (Seera) 49  Ebikolwa byo eby’edda eby’okwagala okutajjulukuka biruwa, Ai Yakuwa,Bye walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?+ 50  Jjukira, Ai Yakuwa, ebivumo bye bavuma abaweereza bo;Jjukira engeri gye ngumira* ebivumo by’amawanga gonna; 51  Engeri abalabe bo gye boogedde obubi ku oyo gwe wafukako amafuta, Ai Yakuwa;Engeri gye boogedde obubi ku ebyo byonna by’akoze. 52  Yakuwa atenderezebwe emirembe n’emirembe. Amiina era Amiina.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “kubeerawo.”
Oba, “mu lukuŋŋaana.”
Obut., “Ejjembe lyaffe ligulumizibwa.”
Obut., “Era ejjembe lye lijja.”
Oba, “obuyinza bwe.”
Obut., “Owanise omukono gw’abalabe be ogwa ddyo.”
Obut., “engeri gye nsitulira mu kifuba kyange.”