Zabbuli 94:1-23

  • Okusaba Katonda awoolere eggwanga

    • “Ababi balituusa wa?” (3)

    • Okugololwa Yakuwa kuleeta essanyu (12)

    • Katonda tajja kwabulira bantu be (14)

    • “Abasuula abalala mu mitawaana nga beeyambisa amateeka” (20)

94  Ai Yakuwa, Katonda awoolera eggwanga,+Ai Katonda awoolera eggwanga, yakaayakana!   Yimuka, Ai ggwe Omulamuzi w’ensi.+ Sasula ab’amalala ekibagwanira.+   Ai Yakuwa, ababi balituusa wa,Ababi balituusa wa okweyagala?+   Bamala googera era baduula;Abakozi b’ebibi bonna beewaana.   Babetenta abantu bo, Ai Yakuwa,+Era babonyaabonya obusika bwo.   Batta nnamwandu n’omugwira,Era batemula abaana abatalina bakitaabwe.   Bagamba nti: “Ya talaba;+Katonda wa Yakobo takiraba.”+   Mumanye kino mmwe abatategeera;Mmwe abasirusiru, muliba ddi n’amagezi?+   Oyo eyakola* okutu, tasobola kuwulira? Oyo eyakola eriiso, tasobola kulaba?+ 10  Oyo agolola amawanga, tasobola kukangavvula?+ Oyo y’awa abantu amagezi!+ 11  Yakuwa amanyi abantu bye balowooza;Akimanyi nti bye balowooza mukka bukka.+ 12  Ai Ya, alina essanyu omuntu gw’ogolola,+Oyo gw’oyigiriza ng’okozesa amateeka go,+ 13  Okumuwa emirembe mu biseera ebizibu,Okutuusa ababi lwe basimirwa ekinnya.+ 14  Kubanga Yakuwa talirekerera bantu be,+Wadde okwabulira obusika bwe.+ 15  Ensala y’emisango eriddamu okuba ey’obutuukirivu,Era abo bonna abalina omutima omugolokofu baligoberera ensala eyo. 16  Ani anantaasa ababi? Ani anamponya abakozi b’ebibi? 17  Singa Yakuwa teyannyamba,Nnandibadde nnasaanawo mu bwangu.*+ 18  Bwe nnagamba nti: “Ekigere kyange kiseerera,” Okwagala kwo okutajjulukuka kwampanirira, Ai Yakuwa.+ 19  Bwe nnali nneeraliikirira nnyo,*Wambudaabuda era n’oŋŋumya.+ 20  Oyinza okukolagana n’abafuzi* ababi,Abasuula abalala mu mitawaana nga beeyambisa amateeka?+ 21  Balumba omutuukirivu,+Era oyo atalina musango bamusalira ogw’okufa.*+ 22  Naye Yakuwa ajja kuba kiddukiro kyange,Katonda wange lwe lwazi lwange mwe nzirukira.+ 23  Ajja kuleetera ebikolwa byabwe ebibi okubaddira.+ Ajja kubazikiriza* ng’akozesa ebintu ebibi bye bakola. Yakuwa Katonda waffe ajja kubazikiriza.*+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “eyasimba.”
Obut., “Nnandibadde mbeera mu kusirika.”
Oba, “Ebirowoozo ebyeraliikiriza bwe byannyinga.”
Oba, “n’abalamuzi.”
Obut., “Era omusaayi gw’oyo atalina musango bagusingisa omusango.”
Obut., “Ajja kubasirisa.”
Obut., “ajja kubasirisa.”