Zabbuli 95:1-11
95 Mujje twogerere waggulu n’essanyu mu maaso ga Yakuwa!
Ka tukubire Olwazi lwaffe olw’obulokozi emizira.+
2 Ka tugende mu maaso ge tumwebaze;+Ka tumuyimbire oluyimba olw’obuwanguzi.
3 Kubanga Yakuwa ye Katonda omukulu,Ye Kabaka omukulu asinga bakatonda abalala bonna.+
4 Ebitundu by’ensi ebya wansi biri mu mukono gwe;Entikko z’ensozi ye nnannyini zo.+
5 Ennyanja gye yakola yiye,+Era emikono gye gye gyakola olukalu.+
6 Mujje tusinze era tuvunname;Ka tufukamire mu maaso ga Yakuwa Omutonzi waffe.+
7 Kubanga ye Katonda waffe,Era tuli bantu ab’omu ddundiro lye,Endiga z’alabirira.*+
Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,+
8 Temukakanyaza mitima gyammwe nga bajjajjammwe bwe baakola e Meriba,*+Nga bwe baakola ku lunaku lw’e Massa* mu ddungu,+
9 Bwe bangezesa;+Bangezesa, wadde nga baali balabye bye nnali nkoze.+
10 Okumala emyaka 40 nneetamwa omulembe ogwo, era nnagamba nti:
“Be bantu abawaba buli kiseera mu mitima gyabwe;Tebamanyi makubo gange.”
11 Kyennava nsunguwala ne ndayira nti:
“Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Endiga z’omukono gwe.”
^ Kitegeeza, “Okuyomba.”
^ Kitegeeza, “Okugezesa.”