Zabbuli 96:1-13
96 Muyimbire Yakuwa oluyimba olupya.+
Muyimbire Yakuwa mmwe ensi yonna!+
2 Muyimbire Yakuwa; mutendereze erinnya lye.
Mulangirire amawulire amalungi ag’obulokozi bwe buli lunaku.+
3 Mulangirire ekitiibwa kye mu mawanga,Mulangirire ebikolwa bye eby’ekitalo mu bantu bonna.+
4 Yakuwa mukulu era agwanidde okutenderezebwa.
Atiibwa okusinga bakatonda abalala bonna.
5 Bakatonda bonna ab’amawanga tebalina mugaso,+Naye Yakuwa ye yakola eggulu.+
6 Ekitiibwa n’obulungi biri mu maaso ge;+Amaanyi n’obulungi biri mu kifo kye ekitukuvu.+
7 Mutendereze Yakuwa, mmwe ebika eby’amawanga;Mutendereze Yakuwa olw’ekitiibwa kye n’olw’amaanyi ge.+
8 Muwe Yakuwa ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;+Muleete ekirabo, mujje mu mpya ze.
9 Muvunnamire* Yakuwa nga mwambadde ebyambalo ebitukuvu;*Mukankanire mu maaso ge mmwe ensi yonna!
10 Mulangirire mu mawanga nti: “Yakuwa afuuse Kabaka!+
Ensi yanywezebwa, teyinza kusagaasagana.
Ajja kulamula abantu mu bwenkanya.”+
11 Eggulu ka lisanyuke, n’ensi k’ejaganye;Ennyanja n’ebigirimu byonna ka biwulugume;+
12 Olukalu ne byonna ebiruliko ka bijaganye.+
N’emiti gyonna egy’omu kibira ka gireekaane olw’essanyu+
13 Mu maaso ga Yakuwa, kubanga ajja;*Kubanga ajja okulamula ensi.
Ajja kulamula ensi mu butuukirivu+Era ajja kulamula amawanga mu bwesigwa bwe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Musinze.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “olw’ekitiibwa ky’obutukuvu bwe.”
^ Oba, “azze.”