Zekkaliya 11:1-17
11 “Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,Omuliro gwokye emiti gyo egy’entolokyo.
2 Kuba ebiwoobe ggwe omuti gw’omuberosi kubanga omuti gw’entolokyo gugudde;Emiti egirabika obulungi gizikiriziddwa.
Mukube ebiwoobe mmwe emiyovu gy’e Basani,Kubanga ekibira ekiziyivu kisaanyiziddwawo.
3 Wulira! Abasumba bakuba ebiwoobeOlw’okuba ekitiibwa kyabwe kiweddewo.
Wulira! Empologoma envubuka ziwulugumaOlw’okuba ebisaka ebisaakaativu ebiri ku lubalama lwa Yoludaani bisaanyiziddwawo.
4 “Bw’ati Yakuwa Katonda wange bw’agamba, ‘Lunda endiga ez’okuttibwa;+
5 abazigula bazitta+ naye ne batavunaanibwa. Abazitunda+ bagamba nti: “Yakuwa atenderezebwe, kubanga ŋŋenda kugaggawala.” Abasumba baazo tebazisaasira n’akatono.’+
6 “‘Siriddamu kusaasira bantu ba mu nsi eno,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Ndireetera buli muntu okugwa mu mukono gwa munne, ne mu mukono gwa kabaka we; balizikiriza ensi, era siribanunula mu mukono gwabwe.’”
7 Nnalunda endiga ezaali ez’okuttibwa,+ era nnakikola ku lwammwe, mmwe endiga ezibonyaabonyezebwa. Nnafuna emiggo ebiri, ogumu ne ngutuuma Obulungi, ate omulala ne ngutuuma Obumu,+ era ne ntandika okulunda endiga.
8 Mu mwezi gumu nnagoba abasumba basatu kubanga nnali sikyayinza kubagumiikiriza era nga nabo tebanjagala.
9 Awo ne ŋŋamba nti: “Sijja kweyongera kubalunda mmwe. Eyo efa k’efe, n’eyo ezikirira k’ezikirire. Ezo ezisigalawo ka ziryaŋŋane.”
10 Awo ne nkwata omuggo gwange oguyitibwa Obulungi+ ne ngutemaatema, bwe ntyo ne mmenyawo endagaano gye nnakola n’abantu bonna.
11 Endagaano n’emenyebwawo ku lunaku olwo, era endiga ezaali zibonyaabonyezebwa ezaali zintunuulidde ne zikitegeera nti kyali kigambo kya Yakuwa.
12 Awo ne mbagamba nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye bwe kiba nga si kirungi temugimpa.” Awo ne bampa* empeera yange, ebitundu bya ffeeza 30.+
13 Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Bisuule mu ggwanika—omuwendo ogwa waggulu gwe baalaba nga gwe gungyaamu.”+ Awo ne nkwata ebitundu bya ffeeza 30 ne mbisuula mu ggwanika ly’ennyumba ya Yakuwa.+
14 Awo ne ntemaatema omuggo gwange ogw’okubiri oguyitibwa Obumu,+ bwe ntyo ne mmenyawo oluganda wakati wa Yuda ne Isirayiri.+
15 Yakuwa n’ayongera n’aŋŋamba nti: “Twala ebintu omusumba atalina mugaso by’akozesa.+
16 Ŋŋenda kukkiriza wabeewo omusumba mu nsi. Endiga ezibula talizifaako.+ Ento talizinoonya, ezimenyese talizijjanjaba,+ n’ezo ezisobola okuyimirira taliziriisa, wabula alirya ennyama y’ezo ensava,+ era aliziggyako ebinuulo.+
17 Zisanze omusumba wange atalina mugaso,+ ayabulira endiga!+
Ekitala kirifumita omukono gwe n’eriiso lye erya ddyo.
Omukono gwe gulikala,N’eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala.”*