Zekkaliya 12:1-14

  • Yakuwa ajja kulwanirira Yuda ne Yerusaalemi (1-9)

    • Yerusaalemi, ‘ejjinja erizitowa’ (3)

  • Okukaabira oyo eyafumitibwa (10-14)

12  Ekirangiriro: “Ekigambo kya Yakuwa ekikwata ku Isirayiri,” Yakuwa eyabamba eggulu,+Eyassaawo omusingi gw’ensi,+Era eyakola omukka* oguli mu muntu, bw’ati bw’agamba:  “Laba, nfuula Yerusaalemi ekikopo* ekireetera amawanga gonna agakyetoolodde okutagala; era Yuda ne Yerusaalemi birizingizibwa.+  Ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja eririzitoowerera amawanga gonna. Abo bonna abalirisitula balifuna ebisago eby’amaanyi,+ era amawanga gonna galikuŋŋaana okulwanyisa Yerusaalemi.”+  Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Ku lunaku olwo ndireetera embalaasi zonna okusoberwa, era n’abazeebagala okugwa eddalu; nditeeka amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era embalaasi zonna ez’amawanga ndiziziba amaaso.  Abaami ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti: ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ge maanyi gaffe agava eri Katonda waabwe, Yakuwa ow’eggye.’+  Ku lunaku olwo abaami ba Yuda ndibafuula ng’omuliro ogukoleezeddwa mu kibira, era ndibafuula ng’omumuli ogwaka oguli mu binywa by’emmere ey’empeke;+ balyokya amawanga gonna agabaliraanye, ku mukono ogwa ddyo n’ogwa kkono,+ era abantu b’omu Yerusaalemi balibeera mu kibuga kyabwe,* mu Yerusaalemi.+  “Yakuwa alisooka kulokola weema za Yuda, ekitiibwa* ky’ennyumba ya Dawudi n’eky’abantu b’omu Yerusaalemi kireme okusinga eky’abantu ba Yuda.  Ku lunaku olwo Yakuwa alikuuma abantu b’omu Yerusaalemi ng’engabo;+ oyo asingayo obunafu* mu bo aliba wa maanyi nga Dawudi ku lunaku olwo, era ennyumba ya Dawudi eriba ya maanyi nga Katonda, eriba nga malayika wa Yakuwa akulembera abantu.+  Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.+ 10  “Ndifuka omwoyo ogw’okusiimibwa n’ogw’okwegayirira ku nnyumba ya Dawudi ne ku bantu b’omu Yerusaalemi, era balitunuulira oyo gwe baafumita;+ balimukaabira ng’abakaabira omwana eyazaalibwa omu yekka, era balimukungubagira nnyo ng’abakungubagira omwana omubereberye. 11  Ku lunaku olwo balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng’ebyo bye baakuba mu Kadadulimmoni mu kiwonvu ky’e Megiddo.+ 12  Ensi erikuba ebiwoobe, nga buli maka gabikuba gali gokka; amaka g’ennyumba ya Dawudi gokka, ne bakazi baabwe bokka; amaka g’ennyumba ya Nasani gokka,+ ne bakazi baabwe bokka; 13  amaka g’ennyumba ya Leevi gokka,+ ne bakazi baabwe bokka; amaka g’Abasimeeyi gokka, ne bakazi baabwe bokka;+ 14  amaka gonna agasigaddewo, buli maka gokka, ne bakazi baabwe bokka.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omwoyo.”
Oba, “ekibya.”
Oba, “mu kifo kyabwe ekituufu.”
Obut., “obulungi.”
Obut., “oyo eyeesittala.”