Zekkaliya 13:1-9

  • Okumalawo ebifaananyi ne bannabbi ab’obulimba (1-6)

    • Bannabbi ab’obulimba ba kuswala (4-6)

  • Omusumba wa kukubwa (7-9)

    • Ekitundu eky’okusatu kya kulongoosebwa (9)

13  “Ku lunaku olwo ab’ennyumba ya Dawudi n’abo ababeera mu Yerusaalemi balisimirwa oluzzi okubanaazaako ekibi n’obutali bulongoofu.”+  Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ku lunaku olwo ndiggirawo ddala ebifaananyi mu nsi+ era tebiriddamu kujjukirwa nate; era ndimalawo mu nsi bannabbi+ n’amaanyi ga badayimooni.  Omuntu bw’aliddamu okulagula, kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti, ‘Tojja kusigala ng’oli mulamu, kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Yakuwa.’ Era kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita olw’okulagula kwe.+  “Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe bw’aliba awa obunnabbi; tebalyambala byambalo bya bannabbi eby’ebyoya+ okusobola okulimba.  Aligamba nti, ‘Nze siri nnabbi. Ndi musajja mulimi, kubanga waliwo eyangula nga nkyali muvubuka.’  Bwe walibaawo amubuuza nti, ‘Ate ebyo ebiwundu ebiri wakati w’ebibegaabega byo?’* Aliddamu nti, ‘Ebiwundu bino nnabifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’”*   Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, “Ggwe ekitala, golokoka olwanyise omusumba wange,+Olwanyise mukwano gwange. Kuba omusumba+ endiga zisaasaane;+Abo aba wansi ndibalaga ekisa”   Bw’ati Yakuwa bw’agamba,“Abantu ebitundu bibiri bya kusatu mu nsi yonna balittibwa ne basaanawo,Ekimu eky’okusatu kye kirisigalawo.   Ekitundu eky’okusatu ndikiyisa mu muliro;Ndibalongoosa nga ffeeza bw’alongoosebwa,Era ndibagezesa nga zzaabu bw’agezesebwa.+ Balikoowoola erinnya lyange,Era nange ndibaanukula. Ndigamba nti, ‘Bano bantu bange,’+Era nabo baligamba nti, ‘Yakuwa ye Katonda waffe.’”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “wakati w’emikono gyo?” Kwe kugamba, mu kifuba oba ku mugongo.
Oba, “y’abo abanjagala.”