Zekkaliya 14:1-21

  • Okusinza okw’amazima kwe kulibaawo kwokka (1-21)

    • Olusozi lw’Emizeyituuni lulibejjukamu wakati (4)

    • Yakuwa aliba omu, era n’erinnya lye liriba limu (9)

    • Ekibonyoobonyo ekirituuka ku balabe ba Yerusaalemi (12-15)

    • Okukwata Embaga ey’Ensiisira (16-19)

    • Buli ntamu eriba ntukuvu mu maaso ga Yakuwa (20, 21)

14  “Laba! Olunaku lujja, olunaku lwa Yakuwa, ebirinyagibwa mu ggwe lwe birigabanirwa mu ggwe.*  Ndikuŋŋaanya amawanga gonna okulwanyisa Yerusaalemi; ekibuga kiriwambibwa, amayumba galinyagibwa, n’abakazi balikwatibwa. Kimu kya kubiri eky’abantu b’omu kibuga baligenda mu buwaŋŋanguse, naye abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.  “Yakuwa aligenda n’alwanyisa amawanga ago+ nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.+  Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku Lusozi olw’Emizeyituuni+ oluli mu maaso ga Yerusaalemi, ku luuyi olw’ebuvanjuba; Olusozi olw’Emizeyituuni lulibejjukamu wakati ebitundu bibiri okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba,* ne wajjawo ekiwonvu ekinene ennyo, era ekitundu ekimu eky’olusozi kiridda ku luuyi olw’ebukiikakkono, ate ekitundu ekirala ne kidda ku luuyi olw’ebukiikaddyo.  Muliddukira mu kiwonvu ekiriba wakati w’ensozi zange, kubanga ekiwonvu ekyo kirituukira ddala e Azeri. Mulidduka nga bwe mwadduka olwa musisi eyaliwo mu kiseera kya Uzziya kabaka wa Yuda;+ era Yakuwa Katonda wange alijja, era abatukuvu bonna baliba wamu naye.+  “Ku lunaku olwo tewalibaawo kitangaala kya maanyi+—ebintu biriba byekutte wamu.  Olunaku olwo luliba lunaku olumanyiddwa ng’olunaku lwa Yakuwa.+ Tebuliba misana ate tebuliba kiro; ne bwe bulituuka akawungeezi walibaawo ekitangaala.  Ku lunaku olwo amazzi amalamu+ galikulukuta nga gava mu Yerusaalemi.+ Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey’ebuvanjuba,*+ ate ekirala mu nnyanja ey’ebugwanjuba.*+ Ekyo kiribaawo mu kiseera eky’omusana ne mu kiseera eky’obutiti.  Yakuwa aliba kabaka w’ensi yonna.+ Ku lunaku olwo Yakuwa aliba omu,+ era n’erinnya lye liriba limu.+ 10  “Ensi yonna erifuuka ng’ekiwonvu kya Alaba,+ okuva e Geba+ okutuuka e Limmoni+ ekiri ebukiikaddyo wa Yerusaalemi. Yerusaalemi kiriyimuka ne kibeera mu kifo kyakyo, era kiribeeramu abantu,+ okuva ku Mulyango gwa Benyamini+ okutuuka ku Mulyango Ogusooka, n’okutuukira ddala ku mulyango ogw’oku Nsonda; era n’okuva ku Munaala gwa Kananeri+ okutuukira ddala ku masogolero ga kabaka. 11  Abantu balikibeeramu; era tewaliddamu kubaayo kikolimo kya kuzikirizibwa,+ era abantu balibeera mu Yerusaalemi mu mirembe.+ 12  “Kino kye kibonyoobonyo Yakuwa ky’alireeta ku bantu b’amawanga gonna agalirwanyisa Yerusaalemi:+ Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde ku magulu gaabwe; amaaso gaabwe galivundira mu nkompe zaago, n’ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. 13  “Ku lunaku olwo okutabulwatabulwa okuva eri Yakuwa kulibuna mu bo; balirwanagana era buli omu alirumba munne.+ 14  Yuda nayo eryenyigira mu lutalo olulibeera e Yerusaalemi. Obugagga bw’amawanga gonna ageetooloddewo bulikuŋŋaanyizibwa: zzaabu ne ffeeza n’ebyambalo, nga bingi nnyo nnyini.+ 15  “Ekibonyoobonyo ekiringa ekyo kirijjira embalaasi n’ennyumbu n’eŋŋamira n’endogoyi n’ensolo eza buli kika eziriba mu nsiisira ezo. 16  “Abo bonna abalisigalawo okuva mu mawanga gonna agalumba Yerusaalemi baligendanga buli mwaka+ okuvunnamira* Kabaka, Yakuwa ow’eggye,+ n’okukwata Embaga ey’Ensiisira.+ 17  Naye omuntu yenna mu mawanga gonna ag’ensi ataligenda Yerusaalemi kuvunnamira Kabaka, Yakuwa ow’eggye, talifuna nkuba.+ 18  Abantu b’e Misiri bwe bataligenda ne bayingira mu kibuga, nabo tebalifuna nkuba. Yakuwa alibaleetako ekibonyoobonyo ky’alireeta ku mawanga agataligenda kukwata Mbaga ey’Ensiisira. 19  Ekyo kye kibonerezo Misiri ky’erifuna olw’ekibi kyayo, era ekyo kye kibonerezo amawanga gonna agataligenda kukwata Mbaga ey’Ensiisira kye galifuna olw’ekibi kyago. 20  “Ku lunaku olwo, ebigambo ‘Obutukuvu bwa Yakuwa!’+ biriwandiikibwa ku bide ebisibwa ku mbalaasi. Entamu*+ ez’omu nnyumba ya Yakuwa ziriba ng’ebbakuli+ mu maaso g’ekyoto. 21  Entamu* zonna mu Yerusaalemi ne mu Yuda ziriba ntukuvu era nga za Yakuwa ow’eggye, era abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazifumbiramu. Mu kiseera ekyo ennyumba ya Yakuwa ow’eggye teriddamu kubeeramu Mukanani.”*+

Obugambo Obuli Wansi

Kino kibuga ekyogerwako mu lunyiriri 2.
Obut., “okutuuka ku nnyanja.”
Ennyanja Meditereniyani.
Ennyanja Enfu.
Oba, “okusinza.”
Oba, “Entamu ez’emimwa emigazi.”
Oba, “Entamu ez’emimwa emigazi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “musuubuzi.”