Zekkaliya 4:1-14

  • Okwolesebwa 5: Ekikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri (1-14)

    • Tebibaawo lwa maanyi wabula lwa mwoyo gwange (6)

    • Tonyooma lunaku lwa ntandikwa ntono (10)

4  Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’anzuukusa ng’azuukusa omuntu ali mu tulo.  Awo n’aŋŋamba nti: “Kiki ky’olaba?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ekikondo ky’ettaala nga kyonna kya zzaabu,+ era nga waggulu kiriko ekibya. Kiriko n’ettaala musanvu,+ era ettaala ezo eziri waggulu ku kyo zirina enseke musanvu.  Okumpi nakyo waliwo emiti gy’emizeyituuni ebiri.+ Ogumu guli ku mukono ogwa ddyo ogw’ekibya, ate omulala guli ku mukono ogwa kkono.”  Awo ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti: “Mukama wange, ebintu bino bitegeeza ki?”  Malayika eyali ayogera nange n’ambuuza nti: “Ddala tomanyi bintu ebyo kye bitegeeza?” Ne mmuddamu nti: “Simanyi, mukama wange.”  Awo n’aŋŋamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agambye Zerubbaberi, ‘“Amagye oba amaanyi+ si bye bijja okusobozesa ebintu bino okubaawo, wabula omwoyo gwange,”+ Yakuwa ow’eggye bw’agamba.  Weeyita ki ggwe olusozi oluwanvu? Ojja kufuuka museetwe+ mu maaso ga Zerubbaberi.+ Ajja kuleeta ejjinja ery’oku ntikko, era bajja kulikubira emizira nga bagamba nti: “Nga ddungi! Nga ddungi!”’”  Era Yakuwa n’aŋŋamba nti:  “Emikono gya Zerubbaberi gye gizimbye omusingi gw’ennyumba eno+ era gye gijja okugimaliriza.+ Era mulimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye gye muli. 10  Ani anyoomye olunaku olw’entandikwa entono?*+ Balisanyuka era baliraba bbirigi* mu mukono gwa Zerubbaberi. Amaaso gano omusanvu ge maaso ga Yakuwa agatunulatunula mu nsi yonna.”+ 11  Awo ne mmubuuza nti: “Emiti gy’emizeyituuni gino ebiri egiri ku mukono gw’ekikondo ky’ettaala ogwa ddyo n’ogwa kkono gitegeeza ki?”+ 12  Era ne mmubuuza nti: “Obutabi obubiri* obw’emizeyituuni obufuka amafuta aga langi eya kacungwa nga gayita mu nseke ebbiri eza zzaabu butegeeza ki?” 13  N’ambuuza nti: “Tomanyi bintu ebyo kye bitegeeza?” Ne mmuddamu nti: “Simanyi, mukama wange.” 14  Awo n’aŋŋamba nti: “Ebintu ebyo bitegeeza abaafukibwako amafuta ababiri abayimiridde okumpi ne Mukama w’ensi yonna.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “olw’ebintu ebitono?”
Obut., “ejjinja.”
Kwe kugamba, obutabi bw’omuti obujjudde ebibala.