Zekkaliya 6:1-15

  • Okwolesebwa 8: Ebigaali bina (1-8)

  • Mutunsi aliba kabaka era kabona (9-15)

6  Awo ne ntunula waggulu nate ne ndaba amagaali ana agaali gava wakati w’ensozi bbiri; ensozi ezo zaali za kikomo.  Eggaali erisooka lyali lisikibwa embalaasi emmyufu, eggaali ery’okubiri lyali lisikibwa embalaasi enzirugavu,+  eggaali ery’okusatu lyali lisikibwa embalaasi enjeru, ate lyo eggaali ery’okuna lyali lisikibwa embalaasi eza bujjagijjagi n’ez’ebibomboola.+  Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Biki ebyo mukama wange?”  Malayika n’anziramu nti: “Egyo gye myoyo ena+ egy’omu ggulu egifuluma nga giva mu maaso ga Mukama w’ensi yonna.+  Eggaali erisikibwa embalaasi enzirugavu ligenda mu nsi ey’ebukiikakkono,+ embalaasi enjeru zigenda mitala wa nnyanja, ate embalaasi eza bujjagijjagi zigenda mu nsi ey’ebukiikaddyo.  Zo embalaasi ez’ebibomboola zaali zaagala nnyo okugenda okutambulatambula mu nsi.” Awo n’azigamba nti: “Mugende mutambuletambule mu nsi.” Bwe zityo ne zitandika okutambulatambula mu nsi.  Awo n’aŋŋamba mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ezo ezigenda mu nsi ey’ebukiikakkono zikkakkanyizza omwoyo gwa Yakuwa mu nsi ey’ebukiikakkono.”  Yakuwa n’aŋŋamba nate nti: 10  “Ggya ku Keludayi ne Tobiya ne Yedaya ebintu bye baaleeta okuva mu bantu abali mu buwaŋŋanguse; ku lunaku olwo ojja kugenda mu nnyumba ya Yosiya mutabani wa Zeffaniya awamu n’abo abavudde e Babulooni. 11  Ojja kutoola ffeeza ne zzaabu obikolemu engule* ogiteeke ku mutwe gwa Yoswa+ kabona asinga obukulu, mutabani wa Yekozadaki. 12  Ojja kumugamba nti: “‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Laba, omusajja ayitibwa Mutunsi.+ Aliroka mu kifo kye, era alizimba yeekaalu ya Yakuwa.+ 13  Y’alizimba yeekaalu ya Yakuwa era y’aliweebwa ekitiibwa. Alituula ku ntebe ye ey’obwakabaka n’afuga, era aliba kabona ku ntebe ye ey’obwakabaka.+ Emirimu egyo gyombi aligikola okuleeta emirembe. 14  Engule* eyo eriteekebwa mu yeekaalu ya Yakuwa ng’ekijjukizo olw’ebyo Keremu ne Tobiya ne Yedaya+ ne Keeni mutabani wa Zeffaniya bye baakola. 15  Abo abali ewala balijja nabo ne bazimba yeekaalu ya Yakuwa.” Bwe muliwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe, olwo mulimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye gye muli.’”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “engule ey’ekitiibwa.”
Oba, “Engule ey’ekitiibwa.”