Emiwendo Emigatte Egya 2018
Ofiisi z’Amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa: 87
Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukolebwa: 240
Ebibiina: 119,954
Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna: 20,329,317
Abaalya ku Mugaati era ne Banywa ku Nvinnyo: 19,521
Ababuulizi * Bonna: 8,579,909
Ababuulizi Ababuulira Buli Mwezi: 8,360,594
Okweyongera Okubaddewo Okuva mu 2017 (%): 1.4
Abaabatizibwa *: 281,744
Abaaweereza nga Bapayoniya * Buli Mwezi: 1,267,808
Abaaweereza nga Bapayoniya Abawagizi Buli Mwezi: 446,642
Essaawa Ze Baamala nga Babuulira: 2,074,655,497
Abaayigirizibwa Bayibuli * Buli Mwezi: 10,079,709
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2018 *, Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa ssente ezisukka mu bukadde bwa ddoola 214 okulabirira bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi b’ebitundu mu buweereza bwabwe. Mu nsi yonna, abaweereza ku ofiisi z’amatabi bali 20,331. Bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
^ lup. 7 Omubuulizi y’oyo eyeenyigira mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Okusobola okutegeera engeri gye tumanyaamu omuwendo gw’ababuulizi, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Many of Jehovah’s Witnesses Are There Worldwide?” (“Abajulirwa ba Yakuwa Bali Bameka mu Nsi Yonna?”)
^ lup. 10 Okumanya ebisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Do I Become One of Jehovah’s Witnesses?” (“Nfuuka Ntya Omujulirwa wa Yakuwa?”)
^ lup. 11 Payoniya ye Mujulirwa wa Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi era eyeewaayo okubuulira amawulire amalungi okumala essaawa engereke buli mwezi.
^ lup. 14 Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “What Is a Bible Study?” (“Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?”)
^ lup. 15 Omwaka gw’obuweereza ogwa 2018 gwatandika Ssebutemba 1, 2017, ne guggwaako nga Agusito 31, 2018.