Emiwendo Emigatte Egya 2019
Ofiisi z’Amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa: 87
Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukolebwa: 240
Ebibiina: 119,712
Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna: 20,919,041
Abaalya ku Mugaati era ne Banywa ku Nvinnyo: 20,526
Ababuulizi * Bonna: 8,683,117
Ababuulizi Ababuulira Buli Mwezi: 8,471,008
Okweyongera Okubaddewo Okuva mu 2018 (%): 1.3
Abaabatizibwa *: 303,866
Abaaweereza nga Bapayoniya * Buli Mwezi: 1,277,738
Abaaweereza nga Bapayoniya Abawagizi Buli Mwezi: 464,980
Essaawa ze Baamala nga Babuulira: 2,088,560,437
Abaayigirizibwa Bayibuli * Buli Mwezi: 9,618,182
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2019 *, Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa ssente ezisukka mu bukadde bwa ddoola 224 okulabirira bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi b’ebitundu mu buweereza bwabwe. Mu nsi yonna, abaweereza ku ofiisi z’amatabi bali 20,858. Bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
^ lup. 7 Omubuulizi y’oyo eyeenyigira mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Okusobola okutegeera engeri gye tumanyaamu omuwendo gw’ababuulizi, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Many of Jehovah’s Witnesses Are There Worldwide?” (“Abajulirwa ba Yakuwa Bali Bameka mu Nsi Yonna?”)
^ lup. 10 Okumanya ebisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Do I Become One of Jehovah’s Witnesses?” (“Nfuuka Ntya Omujulirwa wa Yakuwa?”)
^ lup. 11 Payoniya ye Mujulirwa wa Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi era eyeewaayo okubuulira amawulire amalungi okumala essaawa engereke buli mwezi.
^ lup. 14 Okumanya ebisingawo laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “What Is a Bible Study?” (“Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?”)
^ lup. 15 Omwaka gw’obuweereza ogwa 2019 gwatandika Ssebutemba 1, 2018, ne guggwaako nga Agusito 31, 2019.