Ebirina Okumanyibwa Abo Abazze ku Lukuŋŋaana
OKUBATIZIBWA Abakadde b’omu kibiina kyammwe bakoze enteekateeka okusinziira ku mbeera y’omu kitundu kyammwe, abo abagenda okubatizibwa basobole okubatizibwa ng’ekitundu ky’oku makya eky’Olwomukaaga kiwedde.
OKUWAAYO Olukuŋŋaana luno lugenda kufunibwa mu nnimi ezisukka mu 400. Ssente ze muwaayo kyeyagalire ze zikola ku nsaasaanya ekolebwa mu kuteekateeka olukuŋŋaana luno. Osobola n’okuwaayo okuyitira ku donate.pr418.com. Kyonna ky’owaayo kisiimibwa nnyo. Akakiiko Akafuzi kasiima nnyo ebyo byonna bye muwaayo okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
ESSOMERO LY’ABABUULIZI B’ENJIRI Y’OBWAKABAKA Bapayoniya abali wakati w’emyaka 23 ne 65 abandyagadde okugaziya ku buweereza bwabwe, bakubirizibwa okutegeeza omuwandiisi w’ekibiina kyabwe era n’okujjuzaamu foomu eri ku mukutu gwaffe ey’okusaba okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.
Lutegekeddwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa
© 2021 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania