Emiwendo Emigatte Egya 2022
Ofiisi z’Amatabi ez’Abajulirwa ba Yakuwa: 86
Ensi Omulimu Gwaffe Gye Gukolebwa: 239
Ebibiina: 117,960
Abaaliwo ku Kijjukizo mu Nsi Yonna: 19,721,672
Abaalya ku Mugaati era ne Banywa ku Nvinnyo: 21,150
Ababuulizi Bonna a: 8,699,048
Ababuulizi Ababuulira Buli Mwezi: 8,514,983
Okweyongera Okubaddewo Okuva mu 2021: 0.4
Abaabatizibwa b: 145,552
Abaaweereza nga Bapayoniya c Buli Mwezi: 1,489,252
Abaaweereza nga Bapayoniya Abawagizi Buli Mwezi: 381,310
Essaawa ze Baamala nga Babuulira: 1,501,797,703
Abayizi ba Bayibuli d Buli Mwezi: 5,666,996
Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2022, e Abajulirwa ba Yakuwa baakozesa obukadde bwa ddoola 242 okulabirira bapayoniya, abaminsani, n’abalabirizi abakyalira ebibiina mu buweereza bwabwe. Mu nsi yonna, abaweereza ku ofiisi z’amatabi bali 21,629. Bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna
a Omubuulizi y’oyo eyeenyigira mu kubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 24:14) Okusobola okutegeera engeri gye tumanyaamu omuwendo gw’ababuulizi, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Many of Jehovah’s Witnesses Are There Worldwide?” (“Abajulirwa ba Yakuwa Bali Bameka mu Nsi Yonna?”)
b Okumanya ebisaanyizo omuntu by’alina okutuukiriza okusobola okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, “How Do I Become One of Jehovah’s Witnesses?” (“Nfuuka Ntya Omujulirwa wa Yakuwa?”)
c Payoniya ye Mujulirwa wa Yakuwa assaawo ekyokulabirako ekirungi era eyeewaayo okubuulira amawulire amalungi okumala essaawa engereke buli mwezi.
d Okumanya ebisingawo laba ekitundu ekiri ku jw.org ekirina omutwe, Enteekateeka y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’Okuyigiriza Abantu Bayibuli Ebeera Etya?
e Omwaka gw’obuweereza ogwa 2022 gwatandika Ssebutemba 1, 2021, ne guggwaako nga Agusito 31, 2022.