Amawulire Amalungi Ge Baagala Owulire
Amawulire Amalungi Ge Baagala Owulire
YESU bwe yali ku nsi, abayigirizwa be bajja gy’ali ne bamubuuza nti: “Kiki ekiriba akabonero k’okubeerawo kwo n’ak’amavannyuma g’embeera z’ebintu?” Yabaddamu nti walibaawo entalo ezirizingiramu amawanga mangi, enjala, kawumpuli, musisi, okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka, abayigiriza b’eddiini ab’obulimba abakyamya abantu bangi, obukyayi n’okuyigganyizibwa kw’abagoberezi be ab’amazima, n’okwagala kw’abantu bangi okukwata ku by’obutuukirivu okuwola. Ebintu bino bwe byanditandise okubeerawo, kyandiraze nti Kristo waali naye nga talabika era nti Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okujja. Ago gandibadde mawulire—mawulire malungi! N’olwekyo, Yesu yagattako ebigambo bino nga nabyo kitundu ky’akabonero: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:3-14, NW.
Ebizze bibaawo mu nsi, ku bwabyo bibi, naye kye byoleka kirungi, kwe kugamba, okubeerawo kwa Kristo. Embeera ezoogeddwako waggulu zaatandika okweyoleka mu mwaka ogwogerwako ennyo ogwa 1914! Zaalamba enkomerero y’Ebiseera by’Ab’Amawanga era n’entandikwa y’enkyukakyuka okuva ku bufuzi bw’omuntu okudda mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.
Okuba nti wandibaddewo enkyukakyuka eno kiragibwa mu Zabbuli 110, olunyiriri 1 ne 2, era ne mu Okubikkulirwa 12:7-12. Mu byawandiikibwa ebyo kiragibwa nti Kristo yanditudde ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo mu ggulu okutuusa ekiseera kye eky’okufuuka Kabaka lwe kyandituuse. Awo olutalo mu ggulu lwandivuddemu okusuula Setaani ku nsi, ne kiviirako emitawaana ku nsi, ate Kristo n’afugira wakati mu balabe be. Enkomerero y’obubi yandizze ‘n’ekibonyoobonyo ekinene,’ ekyandituuse ku ntikko ku lutalo olwa Kalumagedoni, oluvannyuma Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi obw’emirembe ne bulyoka butandika.—Matayo 24:21, 33, 34; Okubikkulirwa 16:14-16.
“Naye tegeera kino,” Baibuli bw’etyo bw’egamba “nga mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. 2 Timoseewo 3:1-5.
Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.”—Abamu bayinza okuwakana nga bagamba nti ebintu bino byali bibaddewo emabega mu byafaayo by’omuntu, naye ekituufu kiri nti tebibangawo ku kigero ekyenkana kino. Nga bannabyafaayo n’abakugu aboogera ku biriwo bwe bagamba, tewabangawo kiseera kirala kyonna ku nsi ekifaananako ekyo ekibaddewo okuva mu 1914 n’okweyongera mu maaso. (Laba olupapula 7.) Emitawaana egibaddewo gisaasaanye nnyo okusinga bwe kyali kibadde. Ate era, ku bikwata ku birala ebiri mu kabonero ka Kristo ak’ennaku ez’oluvannyuma, ebintu bino bisaanidde okulowoozebwako: Okulangirira mu nsi yonna okubeerawo kwa Kristo n’Obwakabaka kubadde ku kigero ekitabangawo mu byafaayo. Okuyigganyizibwa olw’okubuulira tekwenkanangako okwo okutuusiddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa. Bikumi na bikumi battibwa mu nkambi aba Nazi gye baatulugunyizanga abantu. N’okutuusa kati, Abajulirwa ba Yakuwa bawereddwa mu bifo ebimu, ate mu bifo ebirala bakwatiddwa,
basibiddwa mu makomera, batulugunyiziddwa, era battiddwa. Bino byonna kitundu ky’akabonero Yesu ke yawa.Nga bwe kyalagulwa mu Okubikkulirwa 11:18, ‘amawanga gasunguwalidde’ Abajulirwa ba Yakuwa abeesigwa, era kino kiraga nti “obusungu” bwa Yakuwa kennyini bugenda kwolekezebwa eri amawanga ago. Ekyawandiikibwa kino kye kimu kigamba nti Katonda ‘ajja kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ Tewabangawo kiseera kyonna mu byafaayo by’omuntu obusobozi bw’ensi okubeesaawo obulamu lwe bwali buteekeddwa mu kabi. Kyokka, kati embeera mbi nnyo! Bannasayansi bangi balabudde nti singa omuntu yeeyongera okwonoona ensi, ejja kutuuka okuba nga tekyayinza kubeeramu bantu. Naye Yakuwa ‘yagibumba okutuulwamu,’ era ajja kugiggyamu abo bonna abagyonoona nga tebannagisaanyawo.—Isaaya 45:18.
EMIKISA KU NSI WANSI W’OBWAKABAKA
Ekirowoozo nti abantu bajja kubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda kiyinza okulabika nga ekigenyi eri abantu bangi abakkiririza mu Baibuli abalowooza nti abalirokolebwa bonna baligenda mu ggulu. Baibuli eraga nti omuwendo gw’abo abagenda mu ggulu mugereke era nti abalibeera ku nsi emirembe gyonna baliba kibiina kinene eky’omuwendo Zabbuli 37:11, 29; Okubikkulirwa 7:9; 14:1-5) Okuba nti Obwakabaka bwa Katonda wansi wa Kristo bujja kufuga ensi yonna kiragibwa mu bunnabbi obuli mu Baibuli mu kitabo kya Danyeri.
ogutali mugereke. (Obwakabaka bwa Kristo bulagibwa mu kitabo ekyo ng’ejjinja eryatemebwa mu bufuzi bwa Yakuwa obulinga olusozi olunene. Likuba era ne lisaanyawo ekifaananyi ekikiikirira amawanga kirimaanyi ag’omu nsi, era “ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi [y]onna.” Obunnabbi bweyongera okugamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:34, 35, 44.
Obwakabaka buno era n’essuubi eryesigamiziddwa ku Byawandiikibwa ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi erabika obulungi erongooseddwa, Abajulirwa ba Yakuwa bye baagala okukubuulirako. Obukadde n’obukadde bw’abantu abalamu kati era obukadde n’obukadde kati abali emagombe bajja kufuna omukisa okugibeeramu emirembe gyonna. Olwo, wansi w’Obufuzi bwa Kristo Yesu obw’Emyaka Olukumi, ekigendererwa kya Yakuwa eky’olubereberye eky’okutonda ensi n’okugiteekako abantu ababiri abaasooka kijja kutuukirizibwa. Olusuku lwa Katonda luno ku nsi terugenda kukooyesa. Nga Adamu bwe yaweebwa omulimu mu lusuku Adeni, n’abantu bajja kuba n’emirimu egisanyusa mu kulabirira ensi era n’ebimera n’ebisolo ebigiriko. ‘Bajja kusanyukira omulimu gw’engalo zaabwe.’—Isaaya 65:22; Olubereberye 2:15.
Ebyawandiikibwa bingi biyinza okujulizibwa okulaga embeera eziribaawo ng’essaala Yesu gye yatuyigiriza eddiddwamu: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Kyokka, ka tunokoleyo kino kyokka kati: “Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo. N’oyo atuula ku ntebe n’ayogera nti Laba, byonna mbizzizza buggya. N’ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.”—Okubikkulirwa 21:3-5.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 15]
‘Ebiro bya kulaba ennaku,’
NAYE ‘enkomerero ejja kujja’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Netherlands
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Nigeria