Be Baani?
Be Baani?
ABAJULIRWA BA YAKUWA baagala weeyongere okubategeera obulungi. Bayinza okuba baliraanwa bo oba ng’okola nabo ku mulimu oba ng’okolaganyeeko nabo mu mbeera endala ez’obulamu. Oyinza okuba wabalabako ku nguudo nga bagaba magazini zaabwe eri abayise. Oba oyinza okuba wayogerako nabo katono nga bazze ku nnyumba yo.
Mazima ddala, Abajulirwa ba Yakuwa baagala okumanya ebikukwatako n’ebikwata ku mbeera yo. Baagala okubeera mikwano gyo n’okukubuulira ebibakwatako, enzikiriza zaabwe, entegeka yaabwe, era ne kye balowooza ku bantu n’ensi ffenna mwe tubeera. Okusobola okutuukiriza ekyo, bakutegekedde akatabo kano.
Mu ngeri ezisinga obungi, Abajulirwa ba Yakuwa balinga abantu abalala bonna. Nabo balina ebizibu ebya bulijjo—eby’eby’enfuna, eby’omubiri, ne mu nneewulira ez’omunda. Bakola ensobi ebiseera ebimu, olw’okuba tebatuukiridde. Naye bagezaako okuyigira ku biba bibatuuseeko era ne banyiikira okusoma Baibuli okusobola okukola enkyukakyuka ezeetaagisa. Beewaddeyo eri Katonda okukola by’ayagala, era bafuba okutuukiriza okwewaayo kuno. Mu byonna bye bakola banoonya obulagirizi bw’Ekigambo kya Katonda n’omwoyo gwe omutukuvu.
Kikulu nnyo gye bali nti enzikiriza zaabwe zeesigamizibwa ku Baibuli so si ku ndowooza z’abantu obuntu oba enzikiriza z’eddiini. Balina endowooza y’emu ng’omutume Pawulo eyayogera bw’ati ng’aluŋŋamiziddwa: “Katonda abeeranga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba.” (Abaruumi 3:4, Baibuli ey’Oluganda eya 1968 *) Bwe kituuka ku njigiriza eziyigirizibwa ng’amazima okuva mu Baibuli, Abajulirwa basemba enkola eyagobererwa Ababeroya bwe baawulira okubuulira kw’omutume Pawulo: “Bakkiriza ekigambo n’omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.” (Ebikolwa 17:11) Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti enjigiriza z’eddiini zonna zirina okwekenneenyezebwa mu ngeri eno okulaba obanga zikkiriziganya n’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, ka zibe ezo ze bayigiriza oba omuntu omulala z’ayigiriza. Bakusaba—yee, bakukubiriza—okukola kino ng’okubaganya nabo ebirowoozo.
Okusinziira ku ekyo, kirabika lwatu nti Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nga Baibuli kye Kigambo kya Katonda. Ebitabo 66 ebigirimu babitwala nga byaluŋŋamizibwa era nga birimu ebyafaayo ebituufu. Ekitundu ekitera okuyitibwa Endagaano Empya bakiyita Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, ate Endagaano Enkadde bakiyita Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Beeyambisa Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani n’eby’Olwebbulaniya, era bye byogera babitegeera nga bwe biba biwandiikiddwa okuggyako mu mbeera ezimu we kirabika olwatu nti ekyogerwako kiri mu ngeri ya kugereesa oba ya kabonero. Bakitegeera nti obunnabbi bwa Baibuli bungi bumaze okutuukirizibwa, n’obulala bugenda butuukirizibwa, ate ng’obulala bujja kutuukirizibwa mu maaso.
ERINNYA LYABWE
Abajulirwa ba Yakuwa? Yee, bwe batyo bwe beeyita. Erinnya lino linnyonnyola kye bali, nga liraga nti bawa obujulirwa obukwata ku Yakuwa, Obwakatonda bwe era n’ebigendererwa bye. Ebigambo “Katonda,” “Mukama,” ne “Omutonzi”—okufaananako ebigambo “Prezidenti,” “Kabaka,” ne “Omugabe”—bitiibwa era biyinza okukozesebwa ku bantu ab’ebitiibwa ab’enjawulo bangi. Naye “Yakuwa” linnya era liyitibwa Katonda omuyinza w’ebintu byonna era Omutonzi w’obutonde bwonna. Kino kiragibwa mu Zabbuli 83:18, olusoma bwe luti: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”
Erinnya Yakuwa (oba Yahweh, enkyusa y’Ekikatuliki eyitibwa Jerusalem Bible era n’abeekenneenya abamu lye balondawo okukozesa) lirabika emirundi nga 7,000 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka. Baibuli ezisinga obungi teziriraga mu bifo ebyo naye mu bifo we lyandibadde ziteekawo ekigambo “Katonda” oba “Mukama.” Kyokka, ne mu Baibuli zino, omuntu era aba asobola okumanya ebifo ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka we bikozesezza Yakuwa kubanga ebigambo ebikozesebwa mu bifo ebyo biwandiikibwa mu nnukuta nnene, bwe biti: KATONDA, MUKAMA. Enkyusa nnyingi ez’ennaku zino zikozesa erinnya Yakuwa oba Yahweh. N’olwekyo, enkyusa ya New World Translation esoma bw’eti mu Isaaya 42:8, “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange.”
Ekyawandiikibwa Abajulirwa ba Yakuwa kwe baggya erinnya lyabwe kiri mu ssuula 43 eya Isaaya. Mu ssuula eyo, embeera eriwo mu nsi yonna efaananyizibwako okuwoza omusango mu kkooti: Bakatonda b’amawanga basabibwa okuleeta abajulirwa baabwe okukakasa obanga bye bakola bya butuukirivu oba okuwulira abajulirwa ba Yakuwa bategeere amazima. Era mu ssuula eyo Yakuwa agamba abantu be: “Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera Yakuwa, n’omuweereza wange gwe nnalonda; mulyoke mumanye era munzikiririzeemu, era mutegeere nga nze nzuuyo: tewali Katonda mulala eyaliwo okusooka nze, era tewaliba mulala alinziririra. Nze, nze mwene, nze Yakuwa; era tewali mulokozi mulala okuggyako nze.”—Isaaya 43:10, 11, American Standard Version.
Yakuwa Katonda yalina abajulirwa be ku nsi mu myaka enkumi n’enkumi egyayitawo nga Yesu tannazaalibwa. Oluvannyuma lwa Abebbulaniya essuula 11 okumenya abamu ku bantu abo ab’okukkiriza, Abebbulaniya 12:1 lugamba: “Kale naffe, bwe tulina olufu lw’abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n’ekibi ekyegatta naffe, tuddukanenga n’okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe.” Yesu yagamba Pontiyo Piraato: “Ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” Ayitibwa “omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.” (Yokaana 18:37; Okubikkulirwa 3:14) Yesu yagamba abayigirizwa be: “Muliweebwa amaanyi [o]mwoyo [o]mutukuvu bw’alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—Ebikolwa 1:8.
N’olwekyo, abantu nga 6,000,000 mu kiseera kino ababuulira mu nsi ezisukka 230 amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Yakuwa obufugibwa Kristo Yesu bawulira nti kituukirawo bulungi okweyita Abajulirwa ba Yakuwa.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 5 Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebyawandiikibwa ebijuliziddwa okuva mu Baibuli mu katabo kano biggiddwa mu nkyusa eno.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 4]
Beewaddeyo eri Katonda okukola by’ayagala
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 4]
Bakkiriza nti Baibuli kye Kigambo kya Katonda
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 5]
Erinnya nga bwe likwataganyizibwa n’okuwoza omusango mu kkooti
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 5]
Abajulirwa nga 6,000,000 bali mu nsi ezisukka mu 230
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Baagala okumanya ebikukwatako
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Erinnya lya Katonda mu Lwebbulaniya olw’edda