Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Bye Bakkiriza?

Biki Bye Bakkiriza?

Biki Bye Bakkiriza?

ABAJULIRWA BA YAKUWA bakkiririza mu Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, Yakuwa, Omutonzi w’eggulu n’ensi. Ebintu eby’ebyewuunyo ebiri mu butonde obutwetoolodde biraga nti waliwo Omutonzi ow’amagezi era ow’amaanyi ennyo eyabitonda byonna. Ng’ebintu ebikolebwa abasajja n’abakazi bwe byoleka engeri zaabwe, era bwe kiri eri ebyo Yakuwa Katonda bye yakola. Baibuli etutegeeza nti “ebibye ebitabalika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde.” Era, awatali ddoboozi oba ebigambo, “eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda.”​—Abaruumi 1:​20; Zabbuli 19:​1-4.

Abantu tebakola bibumbe oba ttivi ne kompyuta nga tebalina kigendererwa. Ensi n’ebitonde ebigiriko, gamba ng’ebimera n’ebisolo bya kitalo nnyo n’okusingawo. Engeri omubiri gw’omuntu ogulimu obukadde n’obukadde bw’obutofaali gye gwakolebwamu tetusobola kugitegeera​—era n’obwongo bwe tukozesa okulowooza nabwo bwa kitalo nnyo! Obanga abantu baba n’ekigendererwa nga bayiiya ebintu ebitali bikulu nnyo, mazima ddala Yakuwa Katonda yalina ekigendererwa bwe yakola ebitonde bye eby’ekitalo! Engero 16:4 (NW ) lugamba nti alina ekigendererwa: “Buli kintu Yakuwa yakikola ng’alina ekigendererwa.”

Yakuwa yakola ensi ng’alina ekigendererwa, nga bwe yagamba abantu ababiri abaasooka: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi . . . , mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:​28) Olw’okujeema, abantu bano ababiri abaasooka baalemwa okujjuza ensi n’amaka amatuukirivu agandirabiridde obulungi ensi n’ebimera n’ebisolo. Naye olw’okuba baalemererwa tekitegeeza nti n’ekigendererwa kya Yakuwa kyagwa butaka. Nga wayiseewo emyaka nkumi na nkumi, kyawandiikibwa nti: “Katonda; eyabumba ensi . . . , yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu.” Si ya kuzikirizibwa, naye “ensi ebeerera emirembe gyonna.” (Isaaya 45:18; Omubuulizi 1:​4, The New English Bible) Ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi kijja kutuukirizibwa: “Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna.”​—Isaaya 46:⁠10.

N’olw’ensonga eyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna era nti abantu bonna, abalamu n’abaafa, abatuukagana n’ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku nsi erongooseddwa era erimu abantu bayinza okugibeerako emirembe gyonna. Abantu bonna baasikira obutali butuukirivu okuva ku Adamu ne Kaawa, era n’olwekyo, boonoonyi. (Abaruumi 5:​12) Baibuli etugamba: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” “Emmeeme eyonoona ye erifa.” (Abaruumi 6:​23; Omubuulizi 9:5; Ezeekyeri 18:​4, 20) Kati olwo bayinza batya okuba abalamu nate okufuna emikisa eginaabaawo ku nsi? Okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo Yesu, kubanga yagamba: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.” “Bonna abali mu ntaana . . .  baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.”​—Yokaana 5:​28, 29; 11:25; Matayo 20:⁠28.

Kino kinaasoboka kitya? Kinnyonnyolwa mu ‘mawulire amalungi ag’obwakabaka,’ Yesu ge yatandika okubuulira ng’ali ku nsi. (Matayo 4:​17-​23, NW ) Naye leero Abajulirwa ba Yakuwa babuulira amawulire amalungi mu ngeri ey’enjawulo.

[Ekipande ekiri ku lupapula 13]

ABAJULIRWA BA YAKUWA BYE BAKKIRIZA

Enzikiriza EbyawandiikibwaEbinnyonnyola

Baibuli Kigambo kya Katonda era 2 Tim. 3:16, 17;

ge mazima 2 Peet. 1:20, 21;

Yok. 17:17

Baibuli yeesigika Mat. 15:3; Bak. 2:8

okusinga obulombolombo

Erinnya lya Katonda ye Yakuwa Zab. 83:18; Is. 26:4;

42:8, AS;

Kuv. 6:3

Kristo ye Mwana wa Katonda era Mat. 3:17;

teyenkanankana ne Katonda 8:42; 14:28;

Yok. 20:17;

1 Kol. 1:3; 15:28

Kristo kye kitonde kya Katonda Bak. 1:15; Kub. 3:14

ekyasooka

Kristo yafiira ku muti, Bag. 3:13; Bik. 5:30

so si ku musaalaba

Obulamu bwa Kristo bwaweebwayo Mat. 20:28;

ng’ekinunulo ku 1 Tim. 2:5, 6;

lw’abantu abawulize 1 Peet. 2:24

Ssaddaaka emu eya Kristo Bar. 6:10;

yali emala Beb. 9:25-28

Kristo yazuukizibwa mu 1 Peet. 3:18;

bafu ng’omuntu Bar. 6:9;

ow’omwoyo atafa Kub. 1:17, 18

Okubeerawo kwa Kristo Yok. 14:19; Mat. 24:3;

kwa mwoyo 2 Kol. 5:16;

Zab. 110:1, 2

Kati tuli mu ‘kiseera Mat. 24:3-14;

ky’enkomerero 2 Tim. 3:1-5;

Luk. 17:26-30

Obwakabaka wansi wa Kristo bujja Is. 9:6, 7; 11:1-5;

kufuga ensi mu butuukirivu Dan. 7:13, 14;

n’emirembe Mat. 6:10

Obwakabaka bujja kuleeta ku nsi Zab. 72:1-4;

embeera ennungi ez’obulamu Kub. 7:9, 10,

13-17; 21:3, 4

Ensi tegenda kuzikirizibwa Mub. 1:4; Is. 45:18;

oba kumalibwako bantu Zab. 78:69

Katonda ajja kuzikiriza embeera Kub. 16:14, 16;

z’ebintu eziriwo mu lutalo Zef. 3:8; Dan. 2:44;

lwa Kalumagedoni Is. 34:2;55; 10, 11

Ababi bajja kuzikirizibwa ddala Mat. 25:41-46;

obutaddayo kubaawo nate 2 Bas. 1: 6-9

Abantu Katonda b’asiima bajja Yok. 3:16;

kufuna obulamu obutaggwaawo 10:27,28;

17:3; Mak. 10:29, 30

Waliwo ekkubo limu lyokka erituusa Mat. 7:13, 14;

mu bulamu Bef. 4:4, 5

Okufa kw’abantu kwasibuka ku Bar. 5:12; 6:23

kibi kya Adamu

Ku kufa emmeeme y’omuntu efa Ez. 18:4; Mub. 9:10;

Zab. 6:5; 146:4;

Yok. 11:11-14

Hell ge magombe Yobu 14:13;

Kub. 20:13, 14

Essuubi eririwo eri abaafa 1 Kol. 15:20-22;

kwe kuzuukira Yok. 5:28, 29;

11:25, 26

Okufa okwava ku Adamu 1 Kol. 15:26, 54;

kujja kukoma Kub. 21:4; Is. 25:8

144,000 bokka ab’ekisibo ekitono Luk. 12:32;

be bagenda mu ggulu okufuga Kub. 14:1, 3;

ne Kristo 1 Kol. 15:40-53;

Kub. 5:9, 10

144,000 bazaalibwa omulundi 1 Peet. 1:23;

ogw’okubiri ng’abaana ba Katonda Yok. 3:3;

ab’eby’omwoyo Kub. 7:3, 4

Endagaano empya ekolebwa na Yer. 31:31;

Isiraeri ey’eby’omwoyo Beb. 8:10-13

Ekibiina kya Kristo kizimbiddwa Bef. 2:20; Is. 28:16;

ku ye kennyini Mat. 21:42

Okusaba kulina kwolekezebwa Yok. 14:6, 13, 14;

Yakuwa yekka okuyitira mu Kristo 1 Tim. 2:5

Ebifaananyi tebirina kukozesebwa Kuv. 20:4, 5;

mu kusinza Leev. 26:1;

1 Kol. 10:14;

Zab. 115:4-8

Eby’obusamize biteekwa Ma. 18:10-12;

okwewalibwa Bag. 5:19-21;

Leev. 19:31

Setaani ye mufuzi w’ensi 1 Yok. 5:19;

atalabika 2 Kol. 4:4;

Yok. 12:31

Omukristaayo tasaanidde kwenyigira 2 Kol. 6:14-17;

mu by’okugattika enzikiriza 11:13-15;

Bag. 5:9; Ma. 7:1-5

Omukristaayo asaanidde Yak. 4:4;

okweyawula ku nsi 1 Yok. 2:15;

Yok. 15:19; 17:16

Amateeka g’abantu gonna Mat. 22:20, 21;

agatakontana na mateeka ga 1 Peet. 2:12; 4:15

Katonda galina okugonderwa

Okuyingiza omusaayi mu mubiri Lub. 9:3, 4;

okuyitira mu kamwa oba mu misuwa Leev. 17:14;

kimenya amateeka ga Katonda Bik. 15:28, 29

Amateeka ga Baibuli ku mpisa 1 Kol. 6:9, 10; Beb. 13:4;

gateekwa okugonderwa 1 Tim. 3:2;

Nge. 5:1-23

Okukwata Ssabbiiti kwali kukwata Ma. 5:15; Kuv. 31:13;

ku Bayudaaya bokka era kwakoma Bar. 10:4; Bag. 4:9, 10;

ng’Amateeka ga Musa gaggiddwawo 2 Bak. 16, 17

Ekibiina ky’abaawule Mat. 23:8-12;

n’okuweebwa ebitiibwa 20:25-27;

eby’enjawulo tebisaana Yobu 32:21, 22

Omuntu teyajja ng’akyuka Is. 45:12;

mpolampola naye yatondebwa Lub. 1:27; Mat. 19:4

Kristo yassaawo ekyokulabirako 1 Peet. 2:21;

ekiteekwa okugobererwa mu Beb. 10:7;

kuweereza Katonda Yok. 4:34; 6:38

Okubatizibwa ng’onnyikibwa mu Mak. 1:9, 10;

mazzi kabonero akooleka okwewaayo. Yok. 3:23;

Bik. 19:4, 5

Abakristaayo babuulira n’essanyu mu lujjudde Bar. 10:10;

amazima g’omu Byawandiikibwa Beb. 13:15;

Is. 43:10-12

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

ENSI . . . yatondebwa Yakuwa . . . erabirirwa bantu, . . . ya kutuulibwamu emirembe gyonna