Ebibuuzo Ebitera Okubuuzibwa Abantu Abaagala Okumanya
Ebibuuzo Ebitera Okubuuzibwa Abantu Abaagala Okumanya
Bwe kiba nti Katonda kwagala, lwaki akyaleseewo obubi?
KATONDA akyaleseewo obubi, era obukadde n’obukadde bw’abantu babwenyigiddemu mu bugenderevu. Ng’ekyokulabirako, batandika entalo, ne basuula bbomu ku baana abato, ne boonoona ensi, era ne baleeta enjala. Bukadde na bukadde banywa sigala ne balwala kookolo ow’omu mawuggwe, benyigira mu bwenzi ne bafuna endwadde ezisaasaanira mu bukaba, banywa omwenge ekiyitiridde ne bafuna obulwadde bw’ekibumba, era benyigira mu bintu ebirala ebifaanana bityo. Mazima ddala, abantu ng’abo tebaagala bubi kukoma. Baagala ebintu ebibi ebibuvaamu bye biba bikoma. Bwe bakungula kye basize, olwo ne balaajana, “Lwaki kituuse ku nze?” Era ne banenya Katonda, nga Engero 19:3 bwe lugamba: “Obusirusiru bw’omuntu bwennyini bwe bwonoona obulamu bwe, awo n’alyoka anyiigira MUKAMA.” (The New English Bible) Ate singa Katonda akomya obubi bwabwe, bandigambye nti baggiddwako eddembe ly’okukola kye baagala!
Ensonga enkulu lwaki Yakuwa akyaleseewo obubi kwe kwanukula okusoomooza kwa Setaani. Setaani Omulyolyomi yagamba nti Katonda teyandikkirizza bantu abeesigwa gy’Ali okugezesebwa. (Yobu 1:6-12; 2:1-10) Yakuwa akyaleseewo Setaani asobole okukakasa kye yasoomooza. (Okuva 9:16) Ng’agezaako okukakasa kye yasoomooza, Setaani yeeyongera okuleeta okubonaabona mu kiseera kino, okuleetera abantu okukyawa Katonda. (Okubikkulirwa 12:12) Kyokka, Yobu yakuuma obugolokofu bwe. Era ne Yesu bwe yakola. Abakristaayo ab’amazima nabo bakola kye kimu kati.—Yobu 27:5; 31:6; Matayo 4:1-11; 1 Peetero 1:6, 7.
Nnandikikkirizza nti walibaawo olusuku lwa Katonda ku nsi abantu mwe balibeera emirembe gyonna, naye ekintu ekyo si kirungi nnyo okusobola okutuukirira?
Si bwe kiri okusinziira ku Baibuli. Kirabika ng’ekitayinzika olw’okuba abantu babadde balaba ebintu ebibi okumala ebyasa bingi. Yakuwa yatonda ensi n’agamba abantu bagijjuze abasajja n’abakazi abatuukiridde abandirabiridde ebimera n’ebisolo ebigiriko era n’okugikuuma ng’erabika bulungi mu kifo ky’okugyonoona. (Laba olupapula 12 ne 17.) Mu kifo ky’okulowooza nti Olusuku lwa Katonda lulungi nnyo okusobola okubeerawo, embeera eziriwo ezinakuwaza mbi nnyo okusobola okweyongera okubeerawo. Olusuku lwa Katonda lujja kudda mu kifo kyazo.
Nnyinza ntya okwanukula abantu abatakkiriza era abagamba nti Baibuli lufumo era tekwatagana na sayansi?
Okukkiririza mu bisuubizo bino tekuba kukkiriza awatali bukakafu. “Okukkiriza kuva mu kuwulira.” Bw’osoma Ekigambo kya Katonda, olaba amagezi agakirimu era okukkiriza kwo kweyongera.—Abaruumi 10:17; Abebbulaniya 11:1.
Ebintu ebikwata ku Baibuli ebiyiikuddwa mu ttaka bikakasa obutuufu bw’ebyafaayo ebyogerwako mu Baibuli. Sayansi ow’amazima akkiriziganya ne Baibuli. Bino ebiddirira byali byawandiikibwako dda mu Baibuli nga tebinnavumbulwa bakugu: emitendera ensi gye yayitamu okusobola okufaanana bw’eti, nti ensi nneekulungirivu, nti eri mu bbanga jjereere, era nti ebinyonyi bisenguka okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala.—Olubereberye, essuula 1; Isaaya 40:22; Yobu 26:7; Yeremiya 8:7.
Obunnabbi obutuukiriziddwa bulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa. Danyeri yalagula okuyimuka n’okugwa kw’obufuzi kirimaanyi, era n’ekiseera eky’okujja kwa Masiya awamu n’okuttibwa kwe. (Danyeri, essuula 2, 8; 9:24-27) Leero, waliwo obunnabbi obulala obutuukirizibwa, obulaga nti zino ‘nnaku za luvannyuma.’ (2 Timoseewo 3:1-5; Matayo, essuula 24) Omuntu tasobola kumanya bintu ng’ebyo nga tebinnabaawo. (Isaaya 41:23) Okumanya ebisingawo, laba ebitabo The Bible—God’s Word or Man’s? ne Is There a Creator Who Cares About You?, ebyakubibwa Watchtower Bible and Tract Society.
Nnyinza ntya okuddamu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli?
Oteekwa okusoma Baibuli n’okugifumiitirizaako, ate mu kiseera kye kimu osabe obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda. (Engero 15:28; Lukka 11:9-13) “Oba ng’omuntu yenna ku mmwe aweebuuka mu magezi,” bw’etyo Baibuli bw’egamba, “asabenga Katonda atamma awa bonna so takayuka.” (Yakobo 1:5) Era, waliwo ebitabo ebiyamba okuyiga Baibuli by’osobola okusoma. Emirundi egisinga, obuyambi okuva eri abalala buba bwetaagibwa, okufaananako Firipo bwe yayigiriza Omuwesiyopya. (Ebikolwa 8:26-35) Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe ku bwereere. Basabe bakuwe obuyambi buno.
Lwaki bangi baziyiza Abajulirwa ba Yakuwa era nga baŋŋamba obutayiga nabo?
Yesu yaziyizibwa bwe yali abuulira, era yagamba nti n’abagoberezi be baliziyizibwa. Abamu bwe baawuniikirira olw’okuyigiriza kwa Yesu, bannaddiini abaali bamuziyiza baagamba: “Era nammwe abakyamizza? Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?” (Yokaana 7:46-48; 15:20) Bangi ku abo abakugamba oleme kuyiga na Bajulirwa baba tebalina kye babamanyiiko oba balina endowooza eyeekubidde olubege. Yiga n’Abajulirwa olabe ggwe kennyini obanga okutegeera kwo okwa Baibuli kuneeyongera oba nedda.—Matayo 7:17-20.
Lwaki Abajulirwa bagenda eri abantu abalina eddiini yaabwe?
Mu kukola bati baba bagoberera ekyokulabirako kya Yesu. Yagenda eri Abayudaaya. Abayudaaya baalina eddiini yaabwe, naye mu ngeri nnyingi yali ewabye okuva ku Kigambo kya Katonda. (Matayo 15:1-9) Amawanga gonna galina eddiini gye gagoberera, k’ebe emu ku ezo eziyitibwa ez’Ekikristaayo oba ezitali za Kikristaayo. Kikulu nnyo abantu okugoberera enzikiriza ezeesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, era Abajulirwa okufuba okubayamba okukola kino kabonero akalaga okwagala.
Abajulirwa bakitwala nti eddiini yaabwe yokka ye ntuufu?
Omuntu yenna omunyiikivu mu ddiini ye aba asaanidde okulowooza nti eddiini ye ye ntuufu. Bwe kitaba kityo, lwaki ate yandibadde agigoberera? Abakristaayo bakubirizibwa: “Mukakasenga ebintu byonna; munywererenga ku kirungi.” (1 Abasessalonika 5:21, NW ) Omuntu asaanidde okukakasa nti enzikiriza ze zeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, kubanga waliwo okukkiriza kumu kwokka okw’amazima. Abaefeso 4:5 lukakasa kino, nga lwogera ku “Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu.” Yesu teyakkiriziganya na ndowooza eriwo ennaku zino nti waliwo amakubo mangi, oba amadiini mangi, nga gonna gatuusa mu bulokozi. Wabula, yagamba: “Omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti balirabye. Singa si kyo, bandibadde banoonyayo eddiini endala.—Matayo 7:14.
Bakkiriza nti be bokka abajja okulokolebwa?
Nedda. Obukadde n’obukadde bw’abantu abaaliwo mu byasa ebyayita era abataali Bajulirwa ba Yakuwa bajja kuzuukizibwa era bafune omukisa ogw’okubeera abalamu. Bangi abalamu kati bayinza okusalawo okugoberera amazima n’obutuukirivu nga “ekibonyoobonyo ekinene” tekinnatuuka, era bajja kufuna obulokozi. Ate era, Yesu yagamba nti tetusaanidde kusalira balala musango. Ffe tulaba kiri kungulu; Katonda alaba ekiri mu mutima. Alabira ddala ekituufu era alamula mu ngeri ey’obusaasizi. Okusala omusango akukwasizza Yesu, so si ffe.—Matayo 7:1-5; 24:21; 25:31.
Abagenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa basuubirwa kuwaayo ki mu by’ensimbi?
Ku bikwata ku kuwaayo ssente, omutume Pawulo yagamba: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw’okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Abakkolinso 9:7) Mu Kingdom Hall n’ebifo omubeera enkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa, tebaayo kusolooza ssente. Obusanduuko buteekebwawo mu bifo ebisaanidde ne kisobozesa oyo yenna ayagala okubaako ky’awaayo asobole okukiwaayo. Tewali n’omu amanya balala kye bawaddeyo. Abamu basobola okuwaayo kingi okusinga abalala; abamu bayinza obutasobola kuwaayo kintu kyonna. Yesu yalaga endowooza entuufu ng’ayogera ku ssanduuko ey’omu ggwanika eyali mu yeekaalu mu Yerusaalemi n’abo abaali bawaayo: Ekikulu bwe busobozi bw’omuntu okubaako ky’awaayo era n’omwoyo ogw’okugaba, so si omuwendo gwa ssente.—Lukka 21:1-4.
Singa nfuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, nnaaba nsuubirwa okubuulira nga bwe bakola?
Omuntu bw’amanya ebikwata ku Lusuku lwa Katonda olwasuubizibwa olunaabeera ku nsi wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Kristo, aba ayagala okubuulirako abalala. Bwe kityo bwe kijja okuba gy’oli. Mawulire malungi!—Ebikolwa 5:41, 42.
Okukola kino ngeri nkulu ey’okulagamu nti oli muyigirizwa wa Yesu Kristo. Mu Baibuli, Yesu ayitibwa “omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.” Bwe yali ku nsi, yabuulira ng’agamba: “Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka,” era yatuma abayigirizwa be okukola kye kimu. (Okubikkulirwa 3:14; Matayo 4:17; 10:7) Oluvannyuma, Yesu yalagira abagoberezi be: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza.” Era yalagula nti ng’enkomerero tennatuuka, “enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna.”—Matayo 24:14; 28:19, 20.
Waliwo engeri nnyingi ez’okubuuliramu amawulire gano amalungi. Oyinza okukikola ng’onyumyako ne mikwano gyo oba abamanyi. Abamu bakikola nga bawandiika amabaluwa oba nga beeyambisa essimu. Abalala baweereza bannaabwe ebitabo ebirimu eby’okuyiga bye balowooza nga binaabanyumira. Olw’okwagala okutuuka ku buli muntu, Abajulirwa bagenda nnyumba ku nnyumba nga babuulira obubaka.
Baibuli erimu okukoowoola kuno okw’ebbugumu: “Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.” (Okubikkulirwa 22:17) Okubuulira abalala ku Lusuku lwa Katonda olunaabeera ku nsi era n’emikisa gye lunaaleeta kirina kukolebwa kyeyagalire, n’omutima ogwagala okubuulira amawulire gano amalungi.
Tuli bakakafu nti olina ebibuuzo ebirala ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa n’enzikiriza zaabwe. Oboolyawo ng’ebimu bikwata ku nsonga z’olinako endowooza ey’enjawulo ennyo. Twandyagadde okuddamu ebibuuzo byo. Tetusobola kwogera ku buli kimu mu katabo kano, n’olwekyo tukukubiriza obibuuze Abajulirwa abali mu kitundu kyo. Oyinza okukikola ng’ogenda mu nkuŋŋaana zaabwe ku Kingdom Hall oba nga bakukyalidde mu maka go. Oba oyinza okuweereza ebibuuzo byo ku I.B.S.A. ng’okozesa emu ku ndagiriro ezo wammanga.