Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Ze Bakozesa Okubuulira Amawulire Amalungi

Engeri Ze Bakozesa Okubuulira Amawulire Amalungi

Engeri Ze Bakozesa Okubuulira Amawulire Amalungi

ABAKRISTAAYO baalagirwa okufuula “amawanga gonna abayigirizwa,” naye kino tekitegeeza nti balina okuwaliriza oba okukaka abalala okukyuka. Omulimu gwa Yesu gwali ‘okubuulira abateefu amawulire amalungi,’ “okugumya abamenyese emitima,” “okubudaabuda abakungubaga.” (Matayo 28:19; Isaaya 61:​1, 2, NW; Lukka 4:​18, 19) Abajulirwa ba Yakuwa bakola kino nga babuulira amawulire amalungi okuva mu Baibuli. Okufaananako nnabbi Ezeekyeri ow’edda, Abajulirwa ba Yakuwa leero bagezaako okuzuula abo “abakaaba era abasinda olw’ebintu ebyennyamiza ebikolebwa.”​—Ezeekyeri 9:⁠4, NW.

Engeri esinze okumanyibwa gye bakozesa okuzuula abo abenyiyiddwa embeera eziriwo kwe kubuulira nnyumba ku nnyumba. Mu ngeri eyo bafuba okutuukirira abantu, nga Yesu bwe yakola bwe “[y]atambula mu bibuga ne mu mbuga ng’abuulira [era] ng’atenda enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda.” Abayigirizwa be abaasooka nabo baakola kye kimu. (Lukka 8:1; 9:​1-6; 10:​1-9) Leero, we kisoboka, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukyalira buli maka emirundi egiwerako buli mwaka, nga baagala okwogerako ne nnyinimu obudakiika butono ku nsonga abantu mu kitundu oba mu nsi yonna gye baagala okwogerako oba ebakwatako. Ekyawandiikibwa kimu oba bibiri biyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo, era nnyinimu bw’aba ayagala okumanya ebisingawo, Omujulirwa ayinza okukola enteekateeka okukomawo ekiseera ekirala. Baibuli n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli bikozesebwa, era nnyinimu bw’aba akyagadde, ayigirizibwa Baibuli mu maka ge awatali kusasula. Obukadde n’obukadde bw’abantu kinnoomu oba ng’amaka bayigirizibwa Baibuli mu ngeri eno obutayosa okwetooloola ensi yonna.

Engeri endala “amawulire amalungi ag’obwakabaka” gye gabuulirwamu eri abalala kwe kuyitira mu nkuŋŋaana ezibeera mu Kingdom Hall. Abajulirwa baba n’enkuŋŋaana mu bifo ebyo buli wiiki. Olumu ku nkuŋŋaana ezo kuba kwogera eri abantu bonna ku nsonga etuukana n’ebiseera, oluvannyuma ne waddawo essomo erikwata ku mutwe ogumu ogwesigamiziddwa ku Baibuli oba obunnabbi, nga beeyambisa magazini Omunaala gw’Omukuumi. Olukuŋŋaana olulala liba ssomero eritendeka Abajulirwa okubeera abalangirizi b’amawulire amalungi abasingako obulungi, oluvannyuma ne waddawo ekitundu eky’okukubaganya ebirowoozo ku mulimu gw’okubuulira mu kitundu kye balimu. Era, omulundi gumu mu wiiki Abajulirwa bakuŋŋaanira mu maka ag’obwannannyini, mu bubinja obutonotono, okuyiga Baibuli.

Abantu bonna baanirizibwa mu nkuŋŋaana zino. Tebaayo kusolooza ssente. Enkuŋŋaana ezo ziganyula bonna. Baibuli egamba: “Tugwanidde okufaayo ku ngeri buli omu gy’ayinza okukubirizaamu munne okwagala n’okukolanga obulungi, nga tetwosa kujja mu nkuŋŋaana zaffe, ng’abamu bwe bakola, wabula nga tukubirizigana, naddala nga bwe mulaba Olunaku nga lusembera.” Okwesomesa ffekka n’okunoonyereza kwetaagisa, naye okukuŋŋaana awamu n’abalala kuzimba: “Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu omu awagala ebirowoozo bya munne.”​—Abebbulaniya 10:​24, 25; Engero 27:​17, The New English Bible.

Era Abajulirwa beeyambisa buli kakisa konna ke bafuna okwogera ku mawulire amalungi nga basisinkanye n’abantu abalala mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Eyinza okuba emboozi ennyimpimpi nga banyumya ne muliraanwa waabwe oba omutambuze omulala mu bbaasi oba mu nnyonyi, emboozi empanvu n’ow’omukwano oba ow’eŋŋanda, oba okukubaganya ebirowoozo ne mukozi munnaabwe ku mulimu mu biseera eby’eky’emisana. Okubuulira okusinga obunene Yesu kwe yakola ng’ali ku nsi kwali kwa ngeri eno​—ng’atambula ku mabbali g’ennyanja, ng’atudde ku mabbali g’olusozi, ng’ali ku kijjulo mu maka g’omuntu, ng’ali ku mbaga, oba ng’ali mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Yayigiririza mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu mu Yerusaalemi. Buli we yabeeranga, yakozesanga akakisa konna okwogera ku Bwakabaka bwa Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutambulira mu bigere bye mu nsonga eno.​—1 Peetero 2:⁠21.

OKUBUULIRA NGA BASSAAWO EKYOKULABIRAKO EKIRUNGI

Engeri ezo zonna ez’okubuulira amawulire amalungi tezandibadde na makulu gonna gy’oli singa omuntu akubuulira tassa mu nkola ebintu by’akuyigiriza. Okwogera ekintu ekimu ate n’okola ekirala buba bunnanfuusi, era obunnanfuusi mu ddiini buleetedde obukadde n’obukadde bw’abantu okwesamba Baibuli. Baibuli enenyezebwa mu bukyamu. Abawandiisi n’Abafalisaayo baalina Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, naye Yesu yabayita bannanfuusi. Yayogera ku kusoma kwabwe okw’Amateeka ga Musa, naye n’agamba abayigirizwa be nti: “Ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.” (Matayo 23:⁠3) Omukristaayo bw’assaawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye yeeyisaamu, ekyo kimatiza nnyo n’okusinga essaawa ennyingi ng’abuulira. Abakyala Abakristaayo abaalina abaami abatali bakkiriza baagambibwa: “Bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe.”​—1 Peetero 3:​1, 2.

N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bagezaako okubuulira abalala amawulire amalungi nga bakozesa n’engeri eno: nga bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu mpisa ez’Ekikristaayo ze babuulira abalala. Bagezaako ‘okukolanga abalala nga bwe baagala nabo babakolenga.’ (Matayo 7:​12) Bagezaako okweyisa bwe batyo eri abantu bonna, so si eri Bajulirwa bannaabwe bokka, mikwano gyabwe, oba ab’eŋŋanda zaabwe. Olw’okuba tebatuukiridde, n’ebikolwa byabwe tebituukiridde. Naye baagalira ddala mu bwesimbu okukola obulungi eri abantu bonna nga bababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era nga babayamba mu ngeri yonna esoboka.​—Yakobo 2:​14-​17.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Hawaii

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Venezuela

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Yugoslavia

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

“Kingdom Hall,” ezizimbibwa mu ngeri esaanira, biba bifo eby’okukubaganyizaamu ebirowoozo ku Baibuli

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Mu maka gaabwe, era ne mu nkolagana zaabwe n’abantu abalala, Abajulirwa bafuba okussa mu nkola ebintu bye babuulira abalala