Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Entegeka Yaabwe ey’Ensi Yonna n’Omulimu Gwabwe

Entegeka Yaabwe ey’Ensi Yonna n’Omulimu Gwabwe

Entegeka Yaabwe ey’Ensi Yonna n’Omulimu Gwabwe

WALIWO emikutu egiwerako egiyitibwamu okuwa obulagirizi ku mulimu gw’okubuulira mu nsi ezisukka 230 omulimu guno gye gukolebwa kati. Obulagirizi obw’oku ntikko buva eri Akakiiko Akafuzi ku kitebe ekikulu mu Brooklyn, New York. Akakiiko Akafuzi kaweereza ababaka buli mwaka mu bitundu eby’enjawulo eby’ensi okuwaanyisiganya ebirowoozo n’abo abaweereddwa obuvunaanyizibwa ku matabi mu bitundu ebyo. Ku ofiisi z’amatabi, ebaayo Obukiiko bw’Amatabi obubeerako abantu wakati w’abasatu n’omusanvu abalabirira omulimu ogukolebwa mu nsi eziri wansi w’ettabi eryo. Amatabi agamu galina ebyuma ebikuba mu kyapa, agamu nga galina n’ebyo ebikolera ku sipiidi ey’amaanyi ennyo. Ensi oba ekitundu ekirabirirwa ettabi kyawulwamu district, ate district ne zaawulwamu circuit. Buli circuit ebaamu ebibiina nga 20. Omulabirizi wa district akyalira circuit eziri mu district ye. Enkuŋŋaana bbiri ennene zibaawo mu mwaka mu buli circuit. Ate waliwo n’omulabirizi wa circuit, ng’ono akyalira buli kibiina ekiri mu circuit ye emirundi ebiri buli mwaka, ng’ayamba Abajulirwa okutegeka n’okukola omulimu gw’okubuulira mu kitundu ekiweereddwa ekibiina ekyo.

Ekibiina eky’omu kitundu ne Kingdom Hall yaakyo bye bisinziirwamu okubuulira amawulire amalungi mu kitundu ekyo. Ebitundu ebibuulirwamu buli kibiina bisalibwamu obutundu obutonotono obulagibwa ku mmaapu. Obutundu buno buweebwa Abajulirwa kinnoomu abafuba okukyalira era n’okwogera n’abantu mu buli maka agali mu butundu obwo. Buli kibiina, nga kibaamu Abajulirwa abayinza n’okuwerera ddala 200, kirina abakadde abaweereddwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. Buli mulangirizi w’amawulire amalungi alina ekifo kikulu nnyo mu ntegeka y’Abajulirwa ba Yakuwa. Buli Mujulirwa, k’abeere ng’aweereza ku kitebe ekikulu, ku ttabi, oba mu kibiina, akola omulimu guno ogw’omu nnimiro ogw’okubuulira abalala ku Bwakabaka bwa Katonda.

Lipoota ez’omulimu guno ziweerezebwa ku kitebe ekikulu ne zikuŋŋaanyizibwa wamu era ne zifulumizibwa mu katabo akafuluma buli mwaka akayitibwa Yearbook. Era, ekipande ekiriko lipoota kifulumizibwa buli mwaka mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 1. Obutabo buno bwombi bubaamu lipoota eziraga byonna ebikoleddwa mu mwaka mu kuwa obujulirwa ku Yakuwa n’Obwakabaka bwe wansi wa Kristo Yesu. Mu myaka egyakayita, Abajulirwa awamu n’abantu abaagala okuyiga naffe nga 14,000,000 be babaddewo ku Kijjukizo ky’okufa kwa Yesu ekikwatibwa buli mwaka. Abajulirwa ba Yakuwa bawaayo essaawa ezisukka mu 1,000,000,000 buli mwaka okulangirira amawulire amalungi era abappya abasukka mu 300,000 babatizibwa. Omuwendo gw’ebitabo ebigabibwa guli mu bukadde na bukadde.