Okukulaakulana Kwabwe okw’Omu Biseera Bino
Okukulaakulana Kwabwe okw’Omu Biseera Bino
EBYAFAAYO by’Abajulirwa ba Yakuwa eby’omu biseera bino byatandika emyaka egisukka mu kikumi egiyise. Mu matandika g’emyaka gya 1870, akabinja k’abantu akatonotono kaatandika okuyigira awamu Baibuli mu Allegheny, Pennsylvania, Amereka, kati ekisangibwa mu Pittsburgh. Charles Taze Russell ye yali akubiriza akabinja kano. Mu Jjulaayi 1879, magazini eyasooka eyitibwa Zion’s Watch Tower and Herald of Christ’s Presence yafulumizibwa. Omwaka gwa 1880 we gwatuukira ebibiina bingi nnyo byali bisaasaanye mu masaza amalala okuva mu kabinja ako akatono akaali kayiga Baibuli. Mu 1881 Zion’s Watch Tower Tract Society yatandikibwawo, era mu 1884 yawandiisibwa mu mateeka, nga Russell ye prezidenti waayo. Erinnya lya Sosayate oluvannyuma lyakyusibwa ne liba Watch Tower Bible and Tract Society. Bangi baali babuulira nnyumba ku nnyumba nga bagaba ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Abantu 50 be baali bakola omulimu guno ebiseera byabwe byonna mu 1888—kati omuwendo guno guli nga 700,000 okwetooloola ensi yonna.
Omwaka 1909 we gwatuukira omulimu gwali gutuuse mu mawanga amalala mangi mu nsi, era ekitebe ekikulu ekya Sosayate ne kisengulwa okudda mu kifo kye kirimu kati mu Brooklyn, New York. Okubuulira okuli mu buwandiike kwafulumizibwanga mu mpapula z’amawulire, era 1913 we gwatuukira okubuulira kuno okwali mu nnimi nnya kwafulumizibwanga mu nkumi n’enkumi z’empapula z’amawulire mu Amereka, Canada, ne Bulaaya. Ebitabo, obutabo, era ne tulakiti bukadde na bukadde byali bibunyisiddwa.
Mu 1912 baatandika okuteekateeka omuzannyo Photo-Drama of Creation. Nga gulimu ebifaananyi awamu n’amaloboozi, gwalaga ebifaananyi okuva ku kutondebwa kw’ensi okutuuka ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Omuzannyo guno gwatandika okulagibwa mu 1914, era abantu 35,000 be baagulabanga buli lunaku. Gwe gwawoma omutwe mu kulaga ebifaananyi ebitambula ebigenderako amaloboozi.
OMWAKA 1914
Ekiseera ekikulu ennyo kyali kisembera. Mu 1876 omuyizi wa Baibuli ayitibwa Charles Taze Russell yawandiika ekitundu ekirina omutwe “Ebiseera by’Ab’Amawanga: Biggwaako Ddi?” mu katabo Bible Examiner, akakubibwa mu Brooklyn, New York, akaagamba ku lupapula 27 mu lufuluma lwako olwa Okitobba, “Ebiseera omusanvu Lukka 21:24, New World Translation) Si buli kimu ekyali kisuubirwa okubaawo mu 1914 ekyaliwo, naye omwaka ogwo gwalamba enkomerero y’Ebiseera eby’Ab’Amawanga era gwali mwaka ogwalina amakulu ag’enjawulo. Bannabyafaayo bangi n’abakugu aboogera ku mbeera ezibaawo bakkiriza nti omwaka 1914 gwali mukulu nnyo mu byafaayo by’omuntu. Ebigambo ebijuliziddwa ebiddirira biraga kino:
bijja kukoma mu A.D. 1914.” Ebiseera by’Ab’Amawanga kye kiseera ekyogerwako mu nkyusa endala eya Baibuli nga “ebiseera ebigereke eby’ab’amawanga.” (“Omwaka ‘ogwa bulijjo’ ogwasemberayo ddala mu byafaayo gwali omwaka 1913, nga Ssematalo I tannabalukawo.”—Ekirowoozo ky’omukuŋŋaanya mu Times-Herald, Washington, D.C., Maaki 13, 1949.
“Ekiseera eky’emyaka 75 okuva mu 1914 okutuuka mu 1989, omwali ssematalo ebbiri n’olutalo olw’ekimugunyu, kitunuulirwa bannabyafaayo ng’ekiseera ekyawufu ennyo, ekiseera eky’enjawulo ennyo ng’ekitundu ekisinga obunene eky’ensi kibadde mu kulwana entalo, kyeddaabulula oluvannyuma lw’olutalo oba nga kyetegekera olutalo.”—The New York Times, Maayi 7, 1995.
“Embeera yayonoonekera ddala mu nsi mu kiseera ekyo Ssematalo I we yabeererawo, era n’okutuusa kati tetumanyi lwaki. Ng’ekyo tekinnabaawo, abantu baali balowooza nti embeera ezisingayo obulungi zaali zinaatera okutuuka. Waaliwo emirembe n’embeera ezeeyagaza. Naye embeera n’eryoka eyonoonekera ddala. Tubadde mu mbeera mbi nnyo okuva olwo . . . Abantu bangi nnyo battiddwa mu kyasa kino okusinga abattibwa mu byafaayo byonna emabega.”—Dr. Walker Percy, American Medical News, Noovemba 21, 1977.
Emyaka egisukka mu 50 oluvannyuma lwa 1914, omukungu Omugirimaani Konrad Adenauer yawandiika: “Obukuumi n’obutebenkevu byaggweerawo ddala mu bulamu bw’abantu okuva mu 1914.”—The West Parker, Cleveland, Ohio, Jjanwali 20, 1966.
Prezidenti wa Sosayate eyasooka, C. T. Russell, yafa mu 1916 era Joseph F. Rutherford ye yamuddira mu bigere omwaka ogwaddako. Enkyukakyuka nnyingi zaaliwo. Waatandikibwawo magazini endala ginne wa The Watchtower, eyitibwa The Golden Age. (Kati eyitibwa Awake!, era obutabo obusukka mu 20,000,000 bufulumizibwa mu nnimi ezisukka mu 80.) Okubuulira okw’oku nnyumba ku nnyumba kwateekebwako essira. Okweyawula okuva ku bibiina by’eddiini za Kristendomu, mu 1931 Abakristaayo bano baatwala erinnya Abajulirwa ba Yakuwa. Erinnya lino lyesigamiziddwa ku Isaaya 43:10 -12.
Reediyo yakozesebwa nnyo mu myaka gya 1920 ne 1930. Omwaka 1933 we gwatuukira Sosayate yali ekozesa emikutu gya reediyo 403 okubunyisa ku mpewo emboozi ezikwata ku Baibuli. Oluvannyuma, okubuulira nnyumba ku nnyumba ng’Abajulirwa beeyambisa gramufomu n’emboozi za Baibuli ezikwatiddwa ku mayinja kwe
kwadda mu kifo ky’okukozesa reediyo. Abantu abaayagalanga okuyiga amazima ga Baibuli, baabayigirizanga mu maka gaabwe.OBUWANGUZI BW’OMU KKOOTI
Mu myaka gya 1930 ne 1940, Abajulirwa bangi baakwatibwa olw’okukola omulimu guno, era ensonga zaatwalibwa mu kkooti okusobola okulwanirira eddembe ery’okwogera, ery’okubunyisa amawulire, ery’okukuŋŋaana awamu, n’ery’okusinza. Mu Amereka, okujulira mu kkooti ento kwasobozesa Abajulirwa okuwangula emisango 43 mu Kkooti Esingayo Obukulu mu Amereka. Mu ngeri y’emu, kkooti enkulu ez’omu nsi endala nazo zaawa ennamula entuufu. Ku bikwata ku buwanguzi buno mu kkooti, Profesa C. S. Braden, mu kitabo kye These Also Believe, yayogera bw’ati ku Bajulirwa: “Bakoleredde demokulase mu ngeri ey’enjawulo nga balwanirira eddembe lyabwe ery’obuntu, olw’okuba mu kukola batyo bakoze kinene mu kuyamba obubinja bwonna obutonotono mu Amereka okufuna eddembe.”
ENTEEKATEEKA EZ’OKUTENDEKA OKW’ENJAWULO
J. F. Rutherford yafa mu 1942 era N. H. Knorr ye yamuddirira ku bwa prezidenti. Enteekateeka ey’okutendeka okw’amaanyi yatandika.
Mu 1943 essomero ery’enjawulo eritendeka abaminsani, eriyitibwa Watchtower Bible School of Gilead, lyatandikibwawo. Okuva olwo n’okweyongera mu maaso, abatendekeddwa mu ssomero lino baweerezeddwa mu bitundu byonna eby’ensi. Ebibiina ebippya bitutumuseewo mu nsi etaali wadde ekimu, era n’amatabi agateekeddwawo mu mawanga ag’enjawulo kati gasukka mu 100. Buli luvannyuma lwa kiseera, emisomo egy’enjawulo giteekeddwawo okutendeka abakadde mu kibiina, abakozi bannakyewa abali ku matabi, era n’abo abenyigidde mu mulimu gw’okubuulira ekiseera kyonna (nga bapayoniya). Emisomo emirala egy’okutendeka abaweereza giteekeddwawo ku ttendekero eriri e Patterson, mu New York.N. H. Knorr yafa mu 1977. Emu ku nkyukakyuka ezikwata ku ntegeka y’ekibiina ze yenyigiramu nga tannafa kwali okugaziya Akakiiko Akafuzi, ku kitebe ekikulu mu Brooklyn. Mu 1976 obuvunaanyizibwa obw’okulabirira omulimu bwagabanyizibwamu ne buweebwa obukiiko obw’enjawulo obuliko ab’oku Kakiiko Akafuzi, nga bonna balina obumanyirivu bwa myaka mingi ng’abaweereza.
EBIFO EBIKUBIRWAMU EBITABO BIGAZIYIZIBWA
Ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa mu biseera byaffe bibaddemu ebintu bingi ebibuguumiriza. Okuva ku kabinja akatonotono ak’abayizi ba Baibuli akaaliwo mu Pennsylvania emabega eri mu 1870, Abajulirwa baali bawezezza ebibiina kumpi 90,000 mu nsi yonna omwaka 2000 we gwatuukira. Okusooka, ebitabo byonna byali bikubibwa bitongole by’ebweru; ate olwo, mu 1920, Abajulirwa baakuba ebitabo ebimu mu bizimbe eby’amakolero bye baali bapangisizza. Naye okuva mu 1927 n’okweyongerayo, ebitabo bingi nnyo byakubirwanga mu kizimbe ekya kalina munaana eky’omu Brooklyn, New York, ekya Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc. Omulimu guno kati gugaziyiziddwa era kati gukolerwa mu bizimbe ebirala eby’amakolero n’ebya ofiisi. Waliwo n’ebizimbe ebirala mu Brooklyn ebisulwamu abaweereza bannakyewa abakola mu bifo bino ebikubirwamu ebitabo. Okugatta ku ekyo, e Wallkill, ekiri mu mambuka ga New York eriyo faamu n’ebyuma ebikuba ebitabo. Ekubirwayo magazini za Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! era walimibwayo emu ku mmere ekozesebwa abaweereza abali mu bifo ebitali bimu. Buli mukozi nnakyewa aweebwayo ensako entonotono buli mwezi okumuyamba okukola ku byetaago bye ebitonotono.
ENKUŊŊAANA ENNENE EZ’ENSI YONNA
Mu 1893 olukuŋŋaana olunene olwasooka lwali mu Chicago, Illinois, Amereka. Lwalimu abantu 360, era abappya 70 baabatizibwa. Olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwasembayo okutegekebwa mu kifo ekimu kyokka lwali mu kibuga New York mu 1958. Lwali mu kisaawe ekiyitibwa Yankee Stadium n’ekyo ekyali kiyitibwa Polo Grounds. Abaaliwo baali 253,922; abappya abaabatizibwa baali 7,136. Okuva olwo enkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna zitegekeddwa mu bifo eby’enjawulo mu nsi nnyingi. Okutwalira awamu, wayinza okutegekebwa enkuŋŋaana bwe ziti nga lukumi okwetooloola ensi.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 8]
Okulwanirira eddembe ly’obuntu mu ngeri ey’enjawulo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
“Omunaala gw’Omukuumi,” okuva ku butabo 6,000 mu lulimi lumu okutuuka ku butabo obusukka 22,000,000 mu nnimi ezisukka mu 132
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Ekiseera ekikulu ennyo mu byafaayo by’omuntu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]