Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omuganyulo gw’Amawulire Amalungi mu Kitundu Kyo

Omuganyulo gw’Amawulire Amalungi mu Kitundu Kyo

Omuganyulo gw’Amawulire Amalungi mu Kitundu Kyo

MU NSI ey’akakyo kano tutera okuwulira endowooza zino: “Emisingi gy’Obukristaayo tegiganyula. Tegikola mu nsi ya leero.” Kyokka, mu mboozi eyaliwo wakati w’omukulembeze Omuhindu, Mohandas K. Gandhi, n’eyaliko omukungu wa Bungereza mu Buyindi, Lord Irwin, endowooza ey’enjawulo ennyo yaweebwa. Kigambibwa nti Lord Irwin yabuuza Gandhi ky’alowooza ekyandisobodde okugonjoola ebizibu ebyaliwo wakati wa Bungereza ne Buyindi. Gandhi yakwata Baibuli n’abikkula mu Matayo essuula ey’okutaano n’agamba: “Ensi yo n’ensi yange bwe zirigoberera enjigiriza za Kristo eziri mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, tuliba tumaze okugonjoola ebizibu ebiriwo wakati w’ensi zaffe era n’ebyo ebiriwo mu nsi yonna.”

Okubuulira okwo kwogera ku kwettanira eby’omwoyo n’okubeera abateefu, ab’emirembe, abasaasizi, era abaagala obutuukirivu. Tekuvumirira bussi bwokka naye era n’obukyayi eri abalala, si bwenzi bwokka naye era n’ebirowoozo eby’obugwenyufu. Kuvumirira ebikolwa ebitali bya buvunaanyizibwa eby’okusattulula obufumbo ebiviirako amaka okusasika era ne kikosa nnyo abaana. Kutubuulirira: ‘Mwagalenga n’abo abatabaagala, mugabire abali mu bwetaavu, temusalira balala musango mu ngeri etali ya busaasizi, muyise abalala nga bwe mwagala babayise.’ Amagezi gano gonna, nga gateekeddwa mu nkola, gandivuddemu emiganyulo nfaafa. Abantu abagigoberera gye bakoma okuba abangi mu kitundu kyo, n’ekitundu kyo gye kyeyongera okuba ekirungi!

Abajulirwa ba Yakuwa balina kinene nnyo kye bakola mu nsonga eno. Baibuli ebayigiriza okussa ekitiibwa mu bufumbo. Abaana baabwe bayigirizibwa emisingi emituufu. Obukulu bw’amaka buteekebwako essira. Amaka agali obumu gaba ga muwendo nnyo mu kitundu kyo, ne mu ggwanga lyonna. Ebyafaayo bijjudde ebyokulabirako eby’obufuzi kirimaanyi obwasasika olw’amaka okunafuwa era n’obugwenyufu okweyongera. Abajulirwa ba Yakuwa gye bakoma okuyamba abantu kinnoomu n’amaka okugoberera emisingi gy’Ekikristaayo, obujeemu, obugwenyufu era n’obumenyi bw’amateeka gye bijja okweyongera okukendeera mu kitundu kyo.

Ekimu ku bizibu ebinene ebikosa abantu n’amawanga leero kwe kusosola mu langi. Okwawukana ku ekyo, omutume Peetero yagamba: “Ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu: naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n’akola obutuukirivu amukkiriza.” Era Pawulo yawandiika: “Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow’eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.” (Ebikolwa 10:​34, 35; Abaggalatiya 3:​28) Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza kino. Ab’amawanga ag’enjawulo ne langi bakolera wamu ku kitebe kyabwe ekikulu, ku matabi, era ne mu bibiina.

Mu Afirika ebika ebimu tebisobola kubeera wamu mu mirembe. Kyokka, mu nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa eziba mu bitundu ebyo, abantu okuva mu bika eby’enjawulo bingi baliira wamu, basula wamu, era ne basinziza wamu mu mirembe n’essanyu. Abakungu ba gavumenti beewuunya bwe balaba kino. Ekyokulabirako ekiraga nti Obukristaayo obw’amazima bugatta wamu kyayogerwako mu katabo ak’omu New York akayitibwa Amsterdam News aka Agusito 2, 1958. Ebigambo bino byayogerwa oluvannyuma lw’okwetegereza olukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwayogeddwako emabega olwakuŋŋaanya awamu Abajulirwa abasukka mu kimu kya kuna eky’akakadde mu kibuga New York.

“Buli wamu Abadduggavu, abeeru n’abantu b’Ebuvanjuba, abava mu buli mbeera ey’obulamu ne mu bitundu byonna eby’ensi, bali wamu mu ssanyu era mu mirembe. . . . Abajulirwa abajja okusinza nga bava mu nsi 120 babadde wamu era ne basinziza wamu mu mirembe, ne balaga Abaamereka nti kiyinza okukolebwa. . . . Olukuŋŋaana olunene kyakulabirako kirungi ennyo ekiraga engeri abantu gye bayinza okukolera awamu era n’okubeera awamu mu mirembe.”

Bangi bayinza okugamba nti emisingi gy’Obukristaayo tegikola mu nsi ey’akakyo kano. Kyokka, kiki ekirala ekikoze oba ekijja okukola? Emisingi gy’Ekikristaayo giyinza okuleeta emiganyulo egya nnamaddala kati nga gigobereddwa mu kitundu kyo, era gye gijja okusobozesa ‘amawanga gonna, ebika, n’abantu’ okubeera obumu mu nsi yonna wansi w’Obwakabaka bwa Katonda.’​—Okubikkulirwa 7:​9, 10.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 23]

Abantu ab’amawanga n’erangi ez’enjawulo bakolera wamu

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 24]

Obukristaayo buganyula. Kiki ekirala ekivuddemu emiganyulo?