Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tukwaniriza

Tukwaniriza

Tukwaniriza

Tunyumiddwa okwogerako naawe okuyitira mu katabo kano. Tusuubira nti onyumiddwa okuyiga ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Tukwaniriza okukyalako mu “Kingdom Hall” yaffe eri mu kitundu kyo. Ojja kulaba engeri enkuŋŋaana zaffe gye zikubirizibwamu. Ojja kulaba engeri gye tufuba okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku lusuku lwa Katonda olunaabeera ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Kristo.

Katonda yalusuubiza. ‘Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe bunaatuula.’ (2 Peetero 3:​13) Ebyasa bingi biyiseewo. Ekiseera eky’okulindirira kinaatera okuggwaako. Embeera eziriwo mu nsi ziraga kino.

“Nga mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yagamba, “tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu.” (Abebbulaniya 10:​24, 25) Tukukubiriza ogoberere amagezi Pawulo ge yawa ng’okuŋŋaana naffe.