Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Amawulire Gano Amalungi ag’Obwakabaka Galibuulirwa”

“Amawulire Gano Amalungi ag’Obwakabaka Galibuulirwa”

“Amawulire Gano Amalungi ag’Obwakabaka Galibuulirwa”

“Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.”​—MATAYO 24:14.

Kye Kitegeeza: Omuwandiisi w’Enjiri ayitibwa Lukka yagamba nti Yesu “yagenda mu buli kibuga ne mu buli kabuga ng’abuulira era ng’alangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 8:1) Ne Yesu kennyini yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda . . ., kubanga ekyo kye kyantumya.” (Lukka 4:43) Yatuma abayigirizwa be okubuulira mu bibuga ne mu byalo, era oluvannyuma yabagamba nti: “Mujja kuba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.”​—Ebikolwa 1:8; Lukka 10:1.

Abakristaayo Abaaliwo mu Kyasa Ekyasooka Baabuuliranga Abalala Amawulire Amalungi: Abayigirizwa ba Yesu baatandikirawo okukola ekyo Yesu kye yabagamba. “Buli lunaku beeyongera okuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo.” (Ebikolwa 5:42) Bonna mu kibiina baalinga bakola omulimu gw’okubuulira, so si bantu batono abalondemu. Munnabyafaayo ayitibwa Neander yagamba nti: ‘Omuwandiisi ayitibwa Celsus eyasooka okwogera obubi ku Bakristaayo yabajerega nti omulimu gw’obuulira gwali gukolebwa abasunsuzi b’ebyoya by’endiba, abatunzi b’engatto, abawazi bw’amaliba, kwe kugamba, abantu abasingayo okuba aba wansi era abatamanyi kusoma.’ Ekitabo ekiyitibwa the The Early Centuries of the Church, kyagamba nti: “[Abakristaayo] baalina okugenda okubuulira buli wamu era nga babuulira buli muntu. Baalina okubuulira ku nguudo, mu bibuga, mu bibangirizi, ne mu maka g’abantu. Ka kibe nti abantu baabaanirizanga oba nedda, . . . baalina okubuulira mu nsi yonna.”

Baani Leero Ababuulira Amawulire Amalungi? Omukulembeze w’eddiini y’Abapolotesitante omu yagamba nti: “Emu ku nsonga lwaki abantu bangi tebaagala kumanya bikwata ku Katonda eri nti ekkanisa ebadde teyigiriza era nga tebuulira bantu Kigambo kya Katonda. Mu kitabo ekiyitibwa Why Are the Catholics Leaving? José Luis Pérez Guadalupe yawandiika ku bintu ebikolebwa Abalokole, Abaseveniside, n’amakanisa amalala era n’agamba nti, “Tebabuulira nnyumba ku nnyumba.” Kyokka yawandiika bw’ati ku Bajulirwa ba Yakuwa: “Babuulira nnyumba ku nnyumba mu ngeri entegeke obulungi.”

Ekitabo ekimu kigamba nti: “Bw’oyogera ku Bajulirwa ba Yakuwa, abantu abasinga obungi ekibajjira mu birowoozo be bantu abajja awaka wo okukubuulira ng’olina eby’okukola bingi. Abajulirwa ba Yakuwa batwala okubuulira nga kukulu nnyo.”

[Akasanduuko]

Abakristaayo ab’Amazima Be Baani?

Okusinziira ku ebyo bye tulabye, Abakristaayo ab’amazima be baani? Wadde nga waliwo amadiini nkumi na nkumi agagamba nti gagoberera Kristo, kijjukire nti Yesu yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” (Matayo 7:21) Bw’ozuula Abakristaayo ab’amazima era n’obeegattako, ojja kusobola okubaawo emirembe gyonna ng’ofugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Tukukubiriza okusaba Abajulirwa ba Yakuwa abaakuwadde akatabo kano okukubuulira ebisingawo ku Bwakabaka bwa Katonda n’emikisa gye bunaaleeta.​—Lukka 4:43.