‘Musigale mu Kigambo Kyange’
‘Musigale mu Kigambo Kyange’
“Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”—YOKAANA 8:31, 32.
Kye Kitegeeza: “Ekigambo” kya Yesu byebyo Yesu bye yayigiriza, ebyava eri Katonda.” Yesu yagamba nti: “Kitange kennyini eyantuma ye yandagira bye nteekwa okwogera.” (Yokaana 12:49) Mu ssaala gye yasaba Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyo ge mazima.” Yesu bwe yabanga ayigiriza, yajulizanga Ekigambo kya Katonda. (Yokaana 17:17; Matayo 4:4, 7, 10) N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima ‘basigala mu kigamba kye’ bwe bakkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda era ne bakolera ku ebyo ebigirimu.
Engeri Abakristaayo Abaasooka Gye Baakiraga nti Baali Bassa Ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda: Okufaananako Yesu, omutume Pawulo naye yali assa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda. Yagamba nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.” (2 Timoseewo 3:16) Abasajja abaalondebwanga okuyigiriza Bakristaayo bannaabwe, baalinanga ‘okunywerera ku kigambo kya Katonda ekyesigwa.’ (Tito 1:7, 9) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakubirizibwa okwewala “obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.”—Abakkolosaayi 2:8.
Baani Leero Abassa Ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda?: Ekitabo ekiyitibwa Catechism of the Catholic Church kigamba nti: “Enjigiriza z’Ekkereziya y’Abakatuliki teziggibwa mu Bayibuli mwokka. N’olwekyo, Kkereziya ekitwala nti obulombolombo bwayo nabwo bukulu ng’ebyo ebiri mu Bayibuli.” Okusinziira ku magazini emu, munnaddiini omu mu kibuga Toronto ekya Canada, yagamba nti akiraba nti tekikola makulu kwesigamya ebyo bye tukkiriza ku Bayibuli oba ku bintu Yesu bye yayigiriza emyaka 2,000 emabega.
Ku luuyi olulala, ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kyogera bwe kiti ku Bajulirwa ba Yakuwa: “Enzikiriza zaabwe bazeesigamya ku Bayibuli yokka, era bakolera ku ebyo by’egamba.” Lumu omusajja omu mu Canada yagamba Omujulirwa wa Yakuwa eyali egenze ewuwe okumubuulira nti: “Mmanyi eddiini yo, kubanga okutte Bayibuli mu ngalo.”